26.The Poets

  1. Twaa Siin Miim
  2. Ebyo bye bigambo by'ekitabo ekinnyonnyola
  3. Olabika nga ayagala okwetta olw'okuba bagaanye okuba abakkiriza
  4. Singa twagadde twandissizza ku bo okuva mu ggulu akabonero, ensingo zaabwe nezikugondera olubeerera
  5. Tewali bubaka bwonna bupya kuva wa Katonda Omusaasizi ennyo wabula bo babuwakanya
  6. Nebaba nga mazima balimbisa, bigenda kubajjira ebigambo ebyo bye baali bajeeja
  7. Abaffe tebatunuulira nsi ne balaba bimeka bye twameza mu yo mu buli mutindo oguvaamu emigaso
  8. Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza
  9. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo
  10. Era jjukira ekiseera Mukama omulabiriziwo bwe yakoowoola Musa (naamulagira) nti: genda eri abantu abeeyisa obubi
  11. Abantu ba Firaawo (obagambe nti) abaffe tebatya Katonda
  12. (Musa) naagamba nti: mazima nze ntya okuba nga bannimbisa
  13. Ekifuba kyange ne kifunda olulimi lwange ne rutayatula, n'olwekyo lagira Haruna (annyambeko)
  14. Ate banninako omusango, ntya nti bayinza okunzita
  15. (Katonda) naagamba nti nedda mugende n'obubonero bwaffe mazima ffe tuli wamu na mmwe tuwulira (tugoberera buli ekigenda mu maaso)
  16. Mugende ewa Firaawo mumugambe nti mazima ffe tutumiddwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna
  17. (Atugambye nti) tuwe abaana ba Israil tugende nabo
  18. (Firaawo) naagamba nti tetwakukuliza mu ffe okuva nga oli mwana muto, era nga wawangaalira mu ffe emyaka mingi ku buwangaazibwo
  19. Era nookola ekikolwakyo ekyo kye wakola e kyakufuula okuba mu batasiima bye bakolerwa
  20. (Musa) naagamba nti nnakikola bwe nnali nkyali mu babuze
  21. Olwo nno nembadduka bwe nnabatya, awo Mukama omulabirizi wange nangabira okumanya e nsonga era nanteeka mu babaka
  22. Ne'kyo e kyengera (eky'okundera n'okukulira mu mmwe) okindalaasaako naye nga ggwe abaana ba Israil wabafuula abaddu
  23. Firaawo naagamba nti Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna gwoyogerako yaani
  24. Musa naagamba nti Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi bwe muba nga mwetegereza ebintu
  25. (Firaawo) kwe kugamba abaali naye awo nti: abaffe temuwulira (nga bwabijweteka)
  26. (Musa) naagamba nti ye Mukama omulabirizi wa mmwe, era Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka
  27. (Firaawo) naagamba nti: mazima omubaka wa mmwe oyo eyatumiddwa gye muli mulalu
  28. (Musa) naagamba nti (ye) Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'ebyo ebiri wakati wa byombi singa mubadde mutegeera
  29. (Firaawo) naagamba nti mazima singa oteekawo Katonda omulala atali nze nja kukuteera ddala mu b'okusibwa
  30. (Musa) naagamba nti ne bwennaaba nkuleetedde ekintu ekyeyolefu (ekiraga obutuufu bw'ebyo bye ngamba)
  31. (Firaawo) naagamba nti kale kireete bwoba nga oli mu boogera amazima
  32. Awo nno Musa naasuula omuggogwe, okugenda okulaba nga musota omweyolefu
  33. Era naggyayo omukonogwe okugenda okulaba nga ggwo gwakaayakanira abalabi
  34. (Firaawo) naagamba abo abaali batudde waali nti mazima ono mulogo kafulu
  35. Ayagala kubaggya mu nsi yammwe ku lw'eddogolye kati mugamba ki
  36. Ne bagamba nti mulagaanyise ne Mugandawe (ddi na wwa) aw'okubasisinkana era otume mu bitundu eby'enjawulo abakungaanya abalogo
  37. Bajja kukuleetera buli mulogo kakensa
  38. Olwo nno abalogo ne bakungaanyizibwa mu kiseera ekiragaane ku lunaku olumanyiddwa
  39. Abantu baagambibwa nti abaffe mmwe munajja
  40. Sikulwa nga tunaagoberera abalogo bwe banaaba bo nga be bawangudde
  41. Abalogo bwe bajja baagamba Firaawo nti mazima tuteekwa okuweebwa empeera bwe tunaaba nga ffe tuwangudde
  42. (Firaawo) naagamba nti weewaawo era mazima mmwe singa kinaaba bwe kityo mujja kubeera ba ku lusegere
  43. Musa naabagamba nti kale mwanje kye mwanja
  44. Nebasuula e miguwa gya bwe n'emiggo gya bwe era ne bagamba nti ku lw'ekitiibwa kya Firaawo mazima ffe tujja okuwangula
  45. Olwo nno Musa naasuula omuggogwe okugenda okulaba nga gwo gumira buli kye baali bagunjizzaawo
  46. Awo nno abalogo ne beeyala nga bavunnama
  47. Nebagamba nti tukkirizza Mukama Omulabirizi w'ebitonde
  48. Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna
  49. Firaawo naagamba nti: mukkirizza byagamba nga sinnaba kubawa lukusa, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, kale nno mujja kukitegeera, nja ku bakutulako e mikono gya mmwe n'amagulu ga mmwe nga bwe nkuggyako okugulu okwa ddyo, omukono nkuggyako gwa kkono, era ddala mwenna nja ku bakomerera ku musaalaba
  50. Ne bagamba nti ekyo tekiriimu buzibu, (anti) mazima ffe tujja kuba tudda eri Mukama omulabirizi waffe
  51. Mazima ffe tululunkanira okuba nga Mukama omulabirizi waffe atusonyiwa ebyonoono byaffe bwe tuba nga ffe abakkiriza abasooka
  52. Era netutumira Musa nti tambula ekiro n'abaddu bange, mazima mmwe mujja kulondoolwa
  53. Firaawo naatuma mu bibuga abakungaanya (eggye era naagamba nti)
  54. Mazima abo kabiina ka bantu batono
  55. Era mazima bbo batunyiizizza
  56. Era nga bulijjo mazima ffe nga tukolera wamu tuli abantu abeekengera
  57. (Okusinziira ku nteekateeka zaabwe ne bye bakola ate) twabaggya mu malimiro ne nsulo ezikulukuta
  58. N'amawanika n'ebifo eby'ekitiibwa
  59. Bwe tutyo nno ne tubisikiza abaana ba Israil
  60. Olwo nno nebabagoberera nga busaasaana
  61. Ebibinja byombi bwe byalengeragana abantu ba Musa baagamba nti mazima ffe bajja kutukwata (batutte)
  62. (Musa) naagamba nti nedda mazima Mukama omulabirizi wange ali nange ajja kundaga eky'okukola
  63. Awo nno ne tutumira Musa nti kuba omuggogwo ku nnyanja, olwo neebajjukamu, buli kibajjo ne kiba nga olusozi olunene
  64. Netusembeza awo abalala (Firaawo ne ggyerye nabo ne bayingira e kkubo Musa lye yakuba ku nnyanja)
  65. Netuwonya Musa n'abaali naye bonna
  66. Oluvanyuma ne tuzikiriza abasigadde
  67. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebaali bakkiriza
  68. Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi
  69. Era basomere ebigambo ebikwata ku Ibrahim
  70. Bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti musinza biki
  71. Nebagamba nti tusinza amasanamu tubeera we gali era ne tugawa ebiseera bingi mu kugasinza
  72. (Ibrahim) naagamba nti abaffe bwe musaba gabawulira
  73. Oba gabagasa oba gasobola okubatuusaako akabi
  74. Nebagamba nti nedda wabula bwe tutyo bakadde baffe bye twasanga bakola
  75. Naagamba nti mulaba ebyo bye musinza
  76. Mmwe ne bakadde ba mmwe abaabakulembera
  77. Mazima byo balabe bange, okugyako Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna
  78. Oyo eyantonda, yye y'annungamya
  79. Era yye yooyo andiisa nannyweesa
  80. Era bwe ndwala yye y'amponya
  81. Era yooyo anzita ate nampa obulamu
  82. Era yye gwe ndulunkanira abe nga ansonyiwa ebyonoono byange ku lunaku lw'okusasulwa
  83. Ayi Mukama omulabirizi ngabira okumanya ensonga era onsisinkanye abalongoofu
  84. Era onteerewo okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma
  85. Era onteeke mu balisikira e jjana ey'ebyengera
  86. Era sonyiwa Kitange mazima yye yali mu babuze
  87. Era tonswazanga olunaku lwe balizuukizibwa
  88. Olunaku emmaali n'abaana lwe bitaligasa
  89. Okugyako (aliganyulwa) yooyo alijja ewa Katonda n'omutima omuyonjo
  90. E jjana erisembezebwa eri abatya Katonda
  91. N'omuliro ne gulagibwa eri ababuze
  92. Era bagenda kugambibwa nti biriwa ebyo bye mwasinzanga
  93. Ne muleka Katonda, abaffe bisobola okubataasa oba byo bisobola okwetaasa
  94. Olwo nno ne bakasukibwa mu gwo bo n'ababuze
  95. Na bonna abali muggye lya Ibuliisu
  96. Baligamba nga bali mu gwo nga bakaayagana (nti)
  97. Tulayira Katonda nti mazima ddala twali mu bubuze obw'olwatu
  98. Bwe twabenkanya (mmwe) ne Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna
  99. Era tewali yatubuza okugyako aboonoonyi
  100. N'olwekyo tetulina bawolereza
  101. Wadde ow'omukwano alumirwa
  102. Naye singa tubadde tulina omukisa (okudda ku nsi) ne tuba mu bakkiriza
  103. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza
  104. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaazizi
  105. Abantu ba Nuhu baalimbisa ababaka
  106. Mu kiseera muganda waabwe Nuhu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)
  107. Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa
  108. Kale mutye Katonda era mungondere
  109. Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna
  110. Kale mutye Katonda era mungondere
  111. Nebagamba nti abaffe tukukkirize nga abakugoberedde be ba wansi
  112. Naagamba nti: mmanya ntya bye baali bakola
  113. Okubalibwa kwa bwe tekuli okugyako kuli ku Mukama omulabirizi wange singa mubadde mumanyi
  114. Ate nze siri wa kugoba bakkiriza (olw'okuba ba wansi)
  115. Nze siri okugyako omutiisa ow'olwatu
  116. Nebagamba nti: owange Nuhu bwo teekomeko ojja kubeerera ddala mu b'okukubwa amayinja
  117. Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima abantu bange bannimbisizza
  118. Kale salawo wakati wange nabo olusalawo olwannamaddala, era omponye owonye n'abakkiriza bendi nabo
  119. Ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato eryali lijjudde
  120. Oluvanyuma twazikiriza abaasigala
  121. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza
  122. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi
  123. Abantu ba A’di baalimbisa ababaka
  124. Mu kiseera muganda waabwe Hudu lwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)
  125. Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa
  126. Kale mutye Katonda era mungondere
  127. Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna
  128. Abaffe muzimba ku buli katunnumba ekijjukizo nga muzannya buzannyi
  129. Era nemweteerawo amayumba amagundiivu nga mulinga abalibeerawo olubeerera
  130. Ate bwe mukwata (abalabe ba mmwe) mukwata enkwata eya ba kirimaanyi (abanyigiriza bannaabwe)
  131. Kale mutye Katonda era mungondere
  132. Era mutye oyo abagabirira ebyo bye mumanyi
  133. Abagabirira ebisolo ebirundibwa era n'abaana
  134. N'amalimiro n'emigga
  135. Mazima nze ku lwa mmwe ntya ebibonerezo by'olunaku oluzibu
  136. Nebagamba nti kyekimu obuuliridde oba toli mu babuulirira
  137. Tekiri kino (eky'okubuulirira kwokola) okugyako nkola ya baasooka
  138. Era ffe tetuli ba kubonerezebwa
  139. Nebamulimbisa olwo nno ne tubazikiriza, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza
  140. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi
  141. Abantu ba Thamud baalimbisa ababaka
  142. Mu kiseera muganda waabwe Swalehe we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)
  143. Mazima nze gye muli ndi mubaka mwesigwa
  144. Kale mutye Katonda era mungondere
  145. Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna
  146. (Mulowooza nti) mujja kulekebwa mirembe mu bintu ebiri wano
  147. (Nga muli) mu malimiro n'emigga
  148. N'ebimera n'emitende egiweese enkota enzito
  149. Era nemukola amayumba mu nsozi mu ngeri y'ekikugu
  150. Kale mutye Katonda era mungondere
  151. Era temugondera ekigambo ky'abasukka e nsalosalo za Katonda
  152. Abo aboonoona mu nsi nebatalongoosa
  153. Nebagamba nti mazima ggwe oli wa mu baloge
  154. Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, kale leeta akabonero bwoba nga oli mu boogera amazima
  155. Naagamba nti engamiya yiino, erina okunywa (ku lunaku lwayo) nammwe munywe ku lunaku olumanyiddwa
  156. Temugituusangako kabi ne bibakwata e bibonerezo by'olunaku oluzito
  157. Wabula baagifumita (neefa) olwo nno ne baba nga bejjusa
  158. Ebibonerezo ne bibatuukako mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga, naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza
  159. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi
  160. Abantu ba Luutu baalimbisa ababaka
  161. Mu kiseera Muganda waabwe Luutu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)
  162. Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa
  163. Kale mutye Katonda era mungondere
  164. Era ssi kibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna
  165. Abaffe mu bitonde byonna ne mwagalamu basajja
  166. Ne muleka ekyo Mukama omulabirizi wa mmwe kye yabatondera mu abo be mwafumbiriganwa nabo, wabula mmwe muli bantu abasukka ebikomo
  167. Nebagamba nti owange Luutu bwoteekomeko ojja kubeerera ddala mu bafulumizibwa (ne bagobwa mu nsi eno)
  168. Naagamba nti mazima ndi omu ku batamwa ekikolwa kya mmwe (eky'ebisiyaga)
  169. Ayi Mukama omulabirizi wange mponya n'abantu bange mu ebyo bye bakola
  170. Netumuwonya n'abantu be bonna
  171. Okugyako omukazi omukadde omu eyali mu baasigala
  172. Oluvanyuma twazikiriza abalala (bonna)
  173. Netubatonnyesaako enkuba, mazima yali mbi nnyo enkuba y'abo abaalabulwa (ne bateebuulirira)
  174. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga kinene naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza
  175. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi
  176. Abantu b'o mu kitundu eky'ekibira baalimbisa ababaka
  177. Mu kiseera Swaibu bwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)
  178. Mazima gye muli ndi Mubaka omwesigwa
  179. Kale mutye Katonda era mungondere
  180. Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna
  181. Era mutuukirizenga okupima temubeera mu abo abafiiriza abalala
  182. Mupimisenga ebipimo ebituufu
  183. Temukendeerezanga abantu ebintu bya bwe, temukolanga ebibi mu nsi ne muba aboonoonyi
  184. Era mutye oyo eyabatonda n'atonda n'emirembe egyasooka
  185. Nebagamba nti mazima ggwe oli mu baloge
  186. Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, era tukulowooza okuba nti oli mu balimba
  187. Kale nno tusuuleko ekibajjo okuva waggulu bwoba nga oli mu boogera amazima
  188. Naagamba nti Mukama omulabirizi wange yaasinga okumanya ebyo bye mukola
  189. Wabula baamulimbisa ne bibakwata ebibonerezo ku lunaku ekire lwe kyabasiikiriza. Mazima kyo kyali kibonerezo kya lunaku oluzito
  190. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza
  191. Era mazima Mukama omulabiriziwo, ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi
  192. Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna
  193. Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu)
  194. (Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi)
  195. Nga eri mu lulimi oluwarabu olutegeerekeka
  196. Era mazima yo eyogerwako mu bitabo eby'edda ebyasooka
  197. Abaffe tekibamala kuba bujulizi okuba nti bagimanyi abayivu b'abaana ba Israil
  198. Singa twagissa ku bamu mu batali bawarabu
  199. Olwo nno (omu kubo) naagibasomera tebandigikkirizza
  200. Bwe kityo twagiyingiza mu mitima gy'aboonoonyi
  201. Tebagenda kugikkiriza okutuusa lwe baliraba ebibonerezo ebiruma
  202. Ebiribajjira ekibwatukira nga bo tebategedde
  203. Olwo nno bagambe nti abaffe tusobola okulindirizibwa
  204. Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba okubaleetera amangu
  205. Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera)
  206. Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa
  207. Tebiyinza kubayamba ebyo bye baaweebwa okweyagaliramu
  208. Tewali kitundu kye twazikiriza okugyako nga kimaze kufuna batiisa (ba Nabbi)
  209. (Kyabanga bwe kityo) lwa kubabuulirira, tetubangako balyazaamaanyi
  210. Era Sitane ssi ze zaajissa (Kur’ani)
  211. Era tekizisaanira era nga tezikisobola
  212. (Ku lw'ensonga nti) mazima zaaziyizibwa okuwulira ebifa mu ggulu
  213. (N'olwekyo) bwoba osinza Katonda tomugattako kintu kirala (anti bwokikola) obeera wa mu balibonerezebwa
  214. Era tiisa ab'oluganda lwo ab'okumpi
  215. Era kakkanya ekiwawaatiro kyo (weewombeke) eri oyo aba akugoberedde mu bakkiriza
  216. Wabula bwe bakujeemera gamba nti mazima nze nnesambye ebyo bye mukola
  217. Era weekwate ku nantakubwa ku mukono omusaasizi
  218. Oyo akulaba woobeerera nga oyimiridde (mu kusaala)
  219. Era n'alaba okwekyusakyusakwo mu bavunnama
  220. Mazima yye y'awulira ennyo omumanyi
  221. Abaffe mbategeeze Sitane zikka ku ani
  222. Zikka ku buli musazi w'abigambo omwonoonyi
  223. Abo abasaasaanya bye bawulira naye nga abasinga obungi mu bo balimba
  224. Era abatontomi, ababuze be babagoberera
  225. Abaffe tolaba nti babulubuutira mu buli lusenyi
  226. Era nti mazima bbo boogera bye batakola
  227. Okugyako abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi ne boogera nnyo ku Katonda era ne baba nga beetaasa oluvanyuma lw'okuba nti bayisibwa bubi, era mazima abo abeeyisa obubi bagenda kumanya buddo ki gye balidda