20.Taa-Haa

  1. Twa-haa
  2. Tetwakussaako Kur’ani obe nga ozitoowererwa
  3. Wabula twagikussaako nga kya kujjukiza eri oyo atya Katonda
  4. (Kur’ani eno) yassibwa okuva eri oyo eyatonda ensi n'eggulu eryewanise
  5. Katonda omusaasizi ow'ekisa ekingi, yatebenkera ku Arish
  6. Bibye ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, n'ebyo ebiri wansi w'ettaka
  7. Singa olina ekigambo kyonna kyoyatudde (k'obe nga tokyatudde) anti mazima yye amanyi ekyekyama n'ekisinga okubeera ekikweke
  8. Katonda y'oyo ewatali kisinzibwa kya mazima okugyako yye. Y'alina amannya agasinga obulungi
  9. Abaffe kwakujjira okwogera (ku kyafaayo) kya Musa
  10. Mu kiseera weyalabira omuliro alyoke agambe abantube nti (mutuule) wano, mazima nze nengende omuliro (kangendeyo) sikulwa nga mbaleetera okuva gye guli eryanda si nakindi nensanga awali omuliro obulungamu
  11. Musa bwe yagutuukako yakoowoolwa nti: owange ggwe Musa
  12. Mazima nze, nze Mukama omulabiriziwo kale ggyamu engattozo, anti mazima ggwe oli mu lusenyi olutukuvu oluyitibwa Tuwa
  13. Era mazima nze nkulonze okubeera (omubaka) wange, kale nno wuliriza obubaka obukussibwako
  14. Mazima nze, nze Katonda nga tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako nze, kale nno nsinza, oyimirizeewo e sswala obeere nga onjogerako mu yo
  15. Anti mazima ekiseera (ebitonde lwe birizuukizibwa) kijja kutuuka mbula kukikweka (nange mbe nga sikimanya, ate bo bakimanyira wa), olwo nno (bwe kiriba kituuse) buli mwoyo gulyoke gusasulwe ebyo bye gwatakabanira
  16. Kale nno takulabankanya okukuggya ku kukolerera ekiseera ekyo, oyo yenna atakikkiriza nga agoberera kwagalakwe (nekikuviirako) okuzikirira
  17. Owange Musa kiki ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo
  18. Naagamba nti ogwo muggo gwange, gunyamba nga ntambula, era gwe nneeyambisa okukuba ebikoola embuzi zange (ziryoke zirye) era nina mugwo emigaso emirala
  19. Katonda naagamba owange Musa gukasuke wansi
  20. Naagukasuka, okugenda okulaba nga gwo musota ogutambula
  21. Katonga naagamba gukwate, era totya, tujja kuguzza ku mbeera yaagwo ey'abulijjo
  22. Yingiza omukono gwo mu nkwawazo, gugenda kuvaayo nga mweru nga ate tegutuukiddwako kabi, nakyo nga ky'amagero kirala
  23. Olwo nno tulyoke tukulage obubonero bwaffe obunene
  24. Genda ewa Firaawo mazima yye yabula (naafuuka kiwagi)
  25. (Musa) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange, nyanjululiza ekifuba kyange
  26. Era onsobozese omulimu gwange
  27. Era ojje okwesiba mu lulimi lwange
  28. Bategeere ebigambo byange
  29. Era onteerewo omuyambi nga ava mu b'oluganda lwange
  30. (Nga ye) Haruna muganda wange
  31. Nkusaba oggumize naye obusobozi bwange
  32. Era omugatte (ku nze) mu mulimu gwange
  33. Olwo nno tube nga tukutendereza nnyo
  34. Era tukwogereko nnyo
  35. Mazima ggwe bulijjo otulabira ddala
  36. (Katonda) naagamba nti owange Musa, oweereddwa ebisabwa byo
  37. Era mazima twakugabira ekyengera omulundi omulala (oluberyeberye lwa kino)
  38. Mu kiseera bwe twatumira eri Maamawo ekyo kye twamutumira
  39. (Netumugamba) nti musse mu sanduke (bwomala) ogisse ku mazzi (g'omugga) amazzi gajja kumukasuka ku lubalama, olwo nno omulabe wange era nga mulabe we ajja kumutwala, era nakussaako ggwe (Musa) okwagala okuva gyendi, era olyoke obeere mu kulabirirwa kwange
  40. Jjukira ekiseera mwannyoko bwe yatambula (naatuuka ku bantu bo mu maka ga Firaawo), naagamba nti abaffe mbalagirire omuntu anaamulabirira, olwo netukuzza ewa Maamawo, eriiso lye liryoke litebenkere (omutima gumubeere wamu), era aleme kunakuwala, (era jjukira nti lumu) watta omuntu wabula netukuwonya okweraliikirira era twakugezesa n'ebigezo bingi, nootuula emyaka egiwera mu bantu be Madiana. Oluvanyuma owange Musa bwomaze nojja wano Katonda nga bwe yakugerera
  41. Era nkwawudde nga oli wange (nkuwadde obubaka)
  42. Genda ggwe ne mugandawo, nga mututte obubonero bwange, kyokka temukoowanga okunjogerako
  43. Mugende mwembiriri ewa Firaawo, mazima yeewaggula
  44. Mumugambe ebigambo ebigonvu, alyoke ajjukire era atye
  45. (Musa ne Haruna) nebagamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tutya, ayinza okutubonyaabonya ennyo, oba (yye) okweyongera okwewaggula
  46. (Katonda) naagamba nti temutya mazima nze ndi wamu nammwe mpulira era ndaba
  47. Kale nno mugende gyali mwembiriri mumugambe nti mazima ffe fembi tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo, tuleke tugende n'abaana ba Israil era tobabonyaabonya. Mazima tukujjidde n'ekyamagero okuva ewa Mukama omulabiriziwo, era bulijjo emirembe gibeera ku oyo agoberera obulungamu
  48. Mazima ffe tuweereddwa obubaka nti, mazima ebibonerezo bibeera ku oyo yenna alimbisa naava ku kituufu
  49. (Oluvanyuma bombi baatuuka ewa Firaawo), naagamba nti owange Musa olwo ani Mukama omulabirizi wa mmwe mwembiriri
  50. (Musa) naagamba nti Mukama omulabirizi waffe y'oyo eyawa buli kintu obutonde bwakyo, oluvanyuma naakirungamya (ku ngeri gye kiteekwa okuwangaalamu)
  51. (Firaawo) naagamba (bwe guba bwe gutyo) emirembe egyakulembera gyo gibalibwa gitya
  52. (Musa) naagamba nti ebigifaako biri wa Mukama omulabirizi wange nga biri mu kitabo (byawandiikibwa dda), Mukama omulabirizi wange takola kikyamu era teyeerabira
  53. (Omulabirizi wange) oyo eyabateerawo ensi nga kyaliiro, naabateera mu yo amakubo, era nassa okuva waggulu amazzi netumeza nago emitendera ebiri mu bimera ebitali bimu
  54. (Netugamba nti) mulye era mulunde ebisolo bya mmwe. Mazima mu ekyo mulimu obubonero eri ab'amagezi
  55. Mulyo (ettaka) mwe twabatonda era mulyo mwe tubazza era mulyo mwe tulibaggya omulundi omulala
  56. Era mazima twamulaga (Firaawo) obubonero bwaffe bwonna naalimbisa era naagaana
  57. (Firaawo) naagamba nti owange Musa ekikuleese kutuggya mu nsi yaffe olw'eddogolyo
  58. Kale nno naffe tujja kukuleetera eddogo eriringa lyo, teeka wakati waffe naawe endagaano, gye tutajja kwawukanako ffe wadde ggwe, (tusisinkane mu) kifo ekikiriziganyiziddwako (enjuyi zombi)
  59. (Musa) naagamba nti endagaano yammwe (tusisinkane) olunaku lw'okwenyiriza, era abantu balagirwanga okukungaana mu kalasa mayanzi
  60. Olwo nno Firaawo yavaawo, naagenda n’agattagatta enkwe ze oluvanyuma najja (ku lunaku olulagaanye)
  61. Musa naabagamba (abalogo) nti: nga mulabye nnyo! Temutemerera Katonda obulimba naabasanyawo, n'ebibonerezo, era bulijjo afaafaaganirwa oyo agunjawo obulimba
  62. (Abalogo), ekigambo kyabwe nebakyawukanamu wakati waabwe, wabula olukiiko lwali mu kyama
  63. Nebagamba nti mazima bano bombi balogo, baagala babaggye mu nsi yammwe, olw'eddogo lyabwe bombi era baggyewo enkola ya mmwe ennungi
  64. Musse kimu mu kusalawo kwa mmwe, olwo nno mulumbe nga muli lunyiriri lumu, era mazima anaawangula olwa leero y'anaaba yeesiimye
  65. Nebagamba nti owange Musa ggwe (osooka) okusuula omuggo oba ffe tube abasooka okusuula
  66. (Musa) naagamba nti wabula mmwe musuule, okugenda okulaba nga emiguwa gyabwe n'emiggo gyabwe, olw'eddogo lyabwe nga gimulabikira nti mazima ddala gitambula
  67. Musa naafuna okutya mu mutima gwe
  68. Netumugamba nti totya, mazima, ggwe ajja okuwangula
  69. Era suula ekyo ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo (nga gwe muggo), gujja kumira ebyo bye bakoze. Anti mazima ddala bye bakoze nkwe za mulogo ate nga omulogo buli waaba tawangula
  70. (Bwe yakola ekyo) abalogo bonna nebagwa nga bavunnama, nebagamba nti tukkirizza Mukama omulabirizi wa Haruna ne Musa
  71. (Firaawo) naagamba nti, mumukkirizza mutya nga sinnaba kubakkiriza, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, n'olwekyo nja kutemerako ddala emikono gyammwe n'amagulu gammwe, (ngantema) omukono ogwa ddyo n'okugulu okwa kkono, era nja kubabamba ku ndoddo z'emitende, era mugenda kumanyira ddala nti ani ku fenna asinza ebibonerezo era ow'okusigalawo
  72. (Abalogo) nebagamba tetujja kukulembeza ku mazima ameeyolefu, agamaze okutujjira, wadde okukulembeza ku oyo eyatonda, kale ggwe, salawo kyosalawo, mazima osobola kusalawo ku buno obulamu obw'ensi
  73. Mazima ffe tukkirizza Mukama omulabirizi waffe, abe nga atusonyiwa ebisobyo byaffe, era atusonyiwe ebyo byotuwaliriza okukola eby'eddogo, era bulijjo Katonda y'asinga obulungi era ow'okusigalawo
  74. Mazima oyo yenna alijja nga mwonoonyi ewa Mukama omulabiriziwe, mazima agenda kuyingira omuliro Jahannama tagenda kufa nga ali mu gwo wadde okubeera omulamu
  75. Ate oyo alimujjira nga mukkiriza, era nga yakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuweebwa amadaala aga waggulu
  76. (Amadaala ago) e jjana ez'olubeerera, nga emigga gikulukutira wansi waazo, baakutuula mu zo obugenderevu, era eyo y'empeera y'oyo eyeetukuza
  77. Era mazima twatumira Musa nti, tambula ekiro n'abaddu bange (abaana ba Israil) obakubire ku nyanja ekkubo ekkalu, totya (mulabe) kubasanga, era totya (nyanja kubasaanyawo)
  78. Olwo nno Firaawo yabagoberera n'eggyerye, olwo nebabikkibwa amazzi ago (Katonda) geyasalawo gababikke
  79. Bwatyo Firawo yabuza abantube era (naye) teyalungama
  80. Abange abaana ba (Israil) mazima twabawonya omulabe wa mmwe, era twabalagaanyisa mu kifo ekiri ku ludda olwa ddyo ku lusozi, (wetwayogerera ne Musa era wetwamuweera Taurat) era twabassiza Manna ne Saliwa (ekisooka mmere ekirala nva)
  81. (okwo netwongerako nti), mulye mu buli kirungi mu ebyo bye tubagabira temusukka ekikomo mu kwo (okulya) nemukakatwako obusungu bwange, era bulijjo oyo yenna gwe bukakatako obusungu bwange aba abuze
  82. Era mazima nze ndi musonyiyi, eri oyo eyeenenya naakola emirimu emirongoofu, ate bulijjo naabeera ku bulungamu
  83. (Musa bwe yatuuka ku lusozi, Katonda naamugamba nti) owange Musa, kiki ekikwanguyizza nooleka abantu bo
  84. Naagamba nti bo, baabo bangoberera, nze nyanguye okujja gyoli Mukama omulabirizi wange, obe nga osiima
  85. (Katonda) naagamba nti, mazima twakemye abantubo nga ovuddeyo, Saamiriyyu naababuza
  86. Olwo nno Musa nadda eri abantu be, nga musunguwavu nga mwennyamivu, naagamba nti abange bantu bange. Abaffe Mukama omulabirizi wa mmwe teyabalagaanyisa endagaano ennungi, ekiseera ekiragaane kye kyabawanvuwako, oba mwayagala mutuukibweko obusungu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, olwo nno nemuva ku ndagaano yange
  87. Nebagamba nti: Endagaanoyo tetwagivuddeko lwa kweyagalira kwaffe, wabula mazima ffe twatikkiddwa ebizito mu by'okwewunda bya bantu ba (Firaawo) olwo nno netubikasuka ( mu muliro) bwatyo Saamiriyyu bwe yasudde
  88. Olwo (Saamiriyyu) naabakoleramu ennyana erina omubiri, era nga engonga, nebagamba nti ono ye Katonda wa mmwe, era Katonda wa Musa wabula Musa yeerabidde, (naagenda so nga Katonda yamulese wano)
  89. Abaffe tebaalaba nti ennyana eyo, yali tesobola kubaddamu kigambo kyonna, era nga tefuga kubatuusaako kabi wadde omugaso
  90. Ate nga mazima Haruna yali amaze okubagamba mu kusooka nti abange bantu bange, mazima mukemeddwa olweyo (ennyana), era mazima Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Katonda omusaasizi kale nno mungoberere era mugondere ekiragiro kyange
  91. Nebagamba nti, tetugenda kulekayo kugisinza, okutuusa Musa lwanadda gye tuli
  92. (Musa bwe yakomawo) yagamba nti owange Haruna bwe walabye nga babuze ki ekyakugaanye
  93. Okungoberera (n'obanenya nga bwenkoze) abaffe wajeemedde ekiragiro kyange
  94. (Haruna) naagamba nti owange mwana wa nnyabo tonsika kirevu, wadde omutwe gwange, mazima nze natidde ggwe okugamba nti, wayawukanyizza abaana ba Israil, nootalinda kigambo kyange
  95. (Musa) naagamba nti ate ggwe Saamiriyyu, kiki ekyakukozesezza ekyo
  96. (Saamiruyyi) naagamba nti nalabye kye bataalabye olwo nno nenjoola olubatu lw'ettaka omubaka (Jiburilu) weyayise, nenkolamu ennyana nze bwentyo bwe nnalabye
  97. (Musa) naagamba nti kale genda, mazima ossiddwako ekibonerezo mu bulamu obw'ensi, ekya tewali kukwataganako, era mazima oweereddwa ekiseera ekigere, togenda ku kyawukanako era tunula (olabe) Katondawo oyo gwe wamaliddeko ebiseera nga osinza, oluvanyuma tugenda kumumansira ddala mu mazzi olumansa
  98. Mazima Katonda wa mmwe ye Katonda oyo awatali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yamalayo buli kintu kyonna mu kumanya
  99. Bwe kityo tukutegeeza amawulire agakwata ku bya kulembera era mazima twakuwa okuva gye tuli ekijjukizza (Kur’ani)
  100. Omuntu agyawukanako mazima agenda kwetikka ku lunaku lw'enkomerero ebibi (ayingizibwe omuliro)
  101. Baakutuula mu gwo olubeerera, omugugu gwabwe ku lunaku lw'enkomerero gugenda kubeera mubi
  102. Olunaku engombe lwe rifuuyibwa, era ku lunaku olwo tugenda kukungaanya aboonoonyi nga amaaso gabatwaakadde
  103. Baliyogeraganya mu bwama, nga bagamba nti: tetumaze ku nsi okugyako ennaku kkumi (zokka)
  104. Ffe tusinga okumanya bye boogera, mu kiseera abasinga okutegeera bwe baagamba nti temwatuula ku nsi okugyako olunaku lumu lwokka
  105. Bakubuuza ekirituuka ku nsozi, gamba nti Mukama omulabirizi wange agenda kuzisaanyaawo olusaanyawo (zibe nga enfuufu)
  106. Olwo nno agireke nga museetwe nga nkalu
  107. Nga tolaba mu yo makoona wadde obutunnumba
  108. Olunaku olwo baligoberera omukoowooze awatali kuwalira, amaloboozi gonna negakkakkanira Katonda, togenda kuwulira mpozzi olukwakwayo (lwokka)
  109. Ku lunaku olwo okuwolereza tekugenda kugasa, okugyako oyo Katonda omusaasizi gwaliba akkirizza era naasiima byayogera
  110. (Katonda) y’amanyi ebiri mu maaso gaabwe, n'ebiri emabega waabwe ate tebayinza kubimanya nebabimalayo
  111. Ebyenyi bigenda kugondera oyo (Katonda) omulamu, eyeeyimirizaawo yekka, mazima aliba aweebuuse oyo alyetikka okweyisa obubi
  112. Ate oyo akola emirimu emirongoofu nga naye mukkiriza, talitya kulyazaamaanyizibwa, era nga era bwatagenda kutya kunyigirizibwa
  113. Mu ngeri bwetyo, twagissa Kur’ani nga eri mu lulimi luwarabu, netunnyonnyola mu yo buli kika kya bitiisa, olwo nno babe nga batya Katonda, oba bafune okubuulirirwa
  114. Wa waggulu nnyo Katonda omufuzi owa mazima, (gwe Muhmmad) toyanguyiriza noosoma Kur’ani nga obubaka obukuweebwa tebunnagwayo, era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nyongera okumanya
  115. Era mazima twakozesa Adam oluberyeberye endagaano, kyokka neyeerabira era tetwamusangamu bunywevu (obutakola ebyo ebyamugaanibwa)
  116. Era jjukira ekiseera bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) yagaana
  117. Netugamba nti owange Adam mazima ono (Sitane) mulabewo, era mulabe wa Mukyalawo, temukkirizanga naabafulumya mu jjana nemwonooneka
  118. Mazima olina ggwe, obutawulira njala mu yo, (e jjana) wadde okuyita obwereere
  119. Era nti mazima ggwe, togenda kuwulira nyonta, nga oli mu yo wadde okwokebwa omusana
  120. Sitane yamulabankanya, naamugamba nti owange Adam, abaffe nkulagirire omuti oguwa obulamu obw'olubeerera, n'obufuzi obutaggwaawo
  121. Olwo nno (Adam ne Haawa) nebalya ku muti, obwereere bwabwe nebubalabikira, nebatandika okwebikka ebikoola byo mu jjana, era nekiba nti Adam yajeemera Mukama omulabiriziwe naabula
  122. Oluvanyuma Mukama omulabiriziwe, yamusembeza nakkiriza okwenenyakwe era naamulungamya
  123. (Katonda) naagamba nti mwenna mugiveemu (mwe ababiri ne sitaane), abamu mu mmwe baliba balabe ba bannaabwe naye bwe buliba bubajjidde obulungamu, okuva gyendi oyo yenna aligoberera okulungamya kwange, tagenda kubula, wadde okwonooneka
  124. Ate oyo ava ku kubuulirira kwange, mazima abeera mu bulamu obunyiga, ate ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuzuukiza nga muzibe
  125. Aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, lwaki onzuukizza nga ndi muzibe, nga ate mazima nali ndaba
  126. (Katonda) naagamba nti bwe kityo, ebigambo byaffe byakujjira noobyerabira, mu ngeri y'emu olwa leero werabiddwa
  127. Bwe kityo bwe tusasula oyo eyayonoona naatakkiriza bigambo bya Mukama omulabiriziwe, ate nga lubeerera ebibonerezo by'o ku lunaku lw'enkomerero, bye bisinga obukakali era bye by'olubeerera
  128. Abaffe tekibayigiriza, eky'okuba nti emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano), nga batambula mu bitundu bya bali (betwazikiriza) mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri ab'amagezi
  129. Era singa si kigambo ekyakulembera nga kyava ewa Mukama omulabiriziwo, era singa tekiri nti entuuko ya buli omu ngere olwo kyandibadde kikakafu (okubazikiriza)
  130. Kale nno gumiikiriza ku ebyo bye boogera, era otendereze ebitendo bya Mukama omulabiriziwo, nga enjuba tennavaayo n'era nga tennagwa, era ne mu kiseera ky'ekiro mutendereze ne ku ssaawa ez'emisana olwo nno obeere mu basiima
  131. Era totunuzanga amaaso go eri ebyo bye tweyagaza nabyo abaafumbiriganwa mu bo (abakaafiiri), nga bya kwewunda bya bulamu bwansi, tubakeme nabyo. Era bulijjo okugabirira kwa Mukama omulabiriziwo kwe kusinga obulungi era kwe kw'olubeerera
  132. Era lagira abantu bo okusaala, era ogumiikirize ku kwo (okusaala), tetukusaba nti weegabirire, ffe tukugabirira. Enkomerero eri mu kutya Katonda
  133. Era (abakaafiiri) bagamba nti singa atuleetera akabonero okuva ewa Mukama omulabiriziwe, naye abaffe tebwabajjira obunnyonnyofu, bw'ebyo obuli mu bitabo ebyasooka
  134. Era singa twabazikiriza n'ebibonerezo oluberyeberyelwe, (Nabbi Muhammad nga tannatumwa) bandigambye nti ayi Mukama omulabirizi waffe, singa watutumira omubaka, olwo nno netugoberera ebigambo byo, netutatuuka ku kukkakkanyizibwa netuswaala
  135. Gamba nti buli omu alindiridde, kale mulindirire, lumu mulimanya, baani abaali ku kkubo eggolokofu, era ani yalungama