19.Mary

  1. Kaaf Haa Yaa Ain Swad
  2. Okwogera ku kusaasira kwa Mukama Omulabiriziwo kwe yawa omudduwe Zakaria
  3. Mu kiseera bwe yasaba Mukama Omulabiriziwe okusaba okw'ekyama
  4. Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima nze amagumba gannyenjebuse, n'omutwe gubunye envi, ate nga ssirekererwangako ayi Mukama Omulabirizi wange buli lwe nkusaba
  5. Era mazima nze, nneekengedde ab'omusaayi gwange (bayinza okweyisa obubi) oluvanyuma lwange, ate nga ne Mukyala wange mugumba awo nno nkusaba ompe okuva gyoli omwana
  6. Anaansikira, era asikire ab'olulyo lwa Yakubu, era omufuule asiimibwa ayi Mukama Omulabirizi wange
  7. (Naayanukulwa nti) owange Zakaria mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu nti ogenda kufuna omwana omulenzi, nga erinya lye ye Yahaya (erinnya) lye tutassangawo oluberyeberye aliyitibwa
  8. (Zakaria) naagamba nti omwana omulenzi (oyo) nnaamufuna ntya, nga Mukyala wange mugumba nga n’olwo bukadde nfuuse mugogge
  9. (Malayika) naagamba nti (bwe kityo bwe kirina okuba), Mukama Omulabiriziwo agambye nti: ekyo ku nze kyangu era mazima nakutonda nga mu kusooka tewali kintu kyonna
  10. (Zakaria) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange nteeraawo akabonero (akanaalaga nti omukyala ali lubuto) naamugamba nti bwe butayogera na bantu okumala ebiro bisatu ebijjudde (awamu n'okuba nga oli mulamu)
  11. Awo nno yafuluma, naasisinkana abantu be nga ava mu ssinzizo naabalagira (nga tayogera, wabula nga akozesa bubonero) nti muteendereze, (Katonda) enkya n'olweggulo
  12. (Yahaya naalagirwa nti) owange Yahaya ekitabo (Tawurat) kikwate na maanyi, era twamuwa okumanya ensonga nga akyali muto
  13. Era twamussaawo nga kulumirwa (bantu) okuva gye tuli era nga butukuvu, era yali mutya Katonda
  14. Era nga yayisa bulungi bakaddebe bombi era tabangako mwekuluntaze omujeemu
  15. Era emirembe gibeere ku ye olunaku lwe yazaalibwa, n'olunaku lwalifa, n'olunaku lwalizuukizibwa nga mulamu
  16. Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani ebikwata ku) Mariam bwe yeesamba abantube nadda ku ludda olw'ebuvanjuba
  17. Naateekawo olutimbe baleme kumulaba awo nno twamutumira mwoyo waffe (Jiburilu) naamweyoleka nga muntu ddala
  18. (Mariam) naagamba nti nsaba Mukama Katonda Omusaasizi akuntaaseeko bwoba nga otya Katonda (ndeka tonsemberera)
  19. (Malayika) naamugamba nti mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Omulabiriziwo nkuleetedde omwana omulenzi omutukuvu
  20. Mariam naagamba nti nyinza ntya okufuna omwana nga tewali muntu yankutteko, ate nga sibangako malaaya
  21. (Malayika naagamba nti) bwe kityo bwe kirina okuba, Mukama Omulabiriziwo agambye nti kyo ku nze kyangu. Era tube nga tumufuula akabonero eri abantu (akalaga obuyinza bwa Katonda), era nga kusaasira okuva gye tuli, era kyali ekigambo ekyasalibwawo (edda)
  22. (Mariam) n'aba olubuto lwa Issa, neyeesamba nalwo okuva mu bantu okulaga eri ekifo ekyesudde
  23. Awo nno ebisa nebimusindiikiriza naasibira wansi w'omutende, naagamba nti, ndabye nze singa nnafa nga kino tekinnabaawo nemba ekyerabiddwa ekitakyafiibwako
  24. (Malayika) naamukoowoola nga asinziira wansi we nti tonakuwala, mazima Mukama omulabiriziwo atadde wansi wo omwaala
  25. Weenyenyeze omutende gujja kukusuulira entende embisi, ezituuse okunoga
  26. Olwo nno, lya ku (ntende) era onywe ku (mwaala) otebenkere amaaso (obeere bulungi), wonna woolabira omuntu yenna, ggwe mugambe nti neeyamye ku lwa Katonda Omusaasizi okusirika, ssigenda kwogera na muntu yenna olwa leero
  27. Naamuleeta eri abantube nga amusitudde nebagamba nti owange Mariam mazima okoze ekintu ekisasamaza
  28. Owange mwannyina wa Haruna, Kitaawo tabangako muntu mukozi wa kibi, era ne Maamawo tabangako Malaaya
  29. (Mariam) naasonga ku mwana, (bali) nebagamba tuyinza tutya okwogera n'omwana ali ku kaali omuwere
  30. (Omwana) naagamba nti mazima nze ndi muddu wa Katonda, ampadde ekitabo (enjiri) era nanfuula Nabbi
  31. Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu
  32. Era (ankuutidde) okuyisa obulungi Maama wange, era tanfudde eyeekuza, omwonoonefu
  33. Era emirembe gibeere ku nze olunaku lwe nnazaalibwa, n'olunaku lwe ndifa, n'olunaku lwe ndizuukizibwa nemba omulamu
  34. Oyo ye Issa Mutabani wa Mariam, ekigambo eky'amazima ekyo (abeeyita abagoberezibe) kye babuusabuusa
  35. Katonda tekimusaanira kweteerawo mwana. Anti yye musukkulumu (ku buli kintu), bwasalawo ekintu mazima akigamba nti ba, nekiba
  36. Era mazima ddala Katonda ye Mukama omulabirizi wange, era Omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze, eryo ly'ekkubo eggolokofu
  37. Wabula ebibiina bya bantu byayawukana (ku nsonga ya Issa), n'olwekyo okubonaabona kugenda kubeera ku abo abaakaafuwala (nebabikka amazima agakwata ku Issa) ku lunaku olunene abantu bonna lwe balibaako
  38. Bagenda kuba nga bawulira nnyo era nga balaba nnyo, olunaku lwe balitujjira naye abeeyisa obubi olwa leero (kuno ku nsi) bali mu bubuze obw'olwatu
  39. Batiise (Ggwe Muhammad) olunaku lw'okwejjusa mu kiseera ekigambo lwe kirisalibwawo, (abalongoofu bayingire e jjana aboonoonyi bayingire omuliro), wabula bo olwa leero bali mu bugayaavu era bbo tebakkiriza
  40. Mazima ffe, ffe tulisikira ensi n'abagiriko era gye tuli gye balizzibwa
  41. Era yogera nga ojja mu kitabo (kino Kur’ani) ebikwata ku Ibrahim, mazima yye yali mukkiriza ow'amazima era nga Nabbi
  42. Mujjukire (Ibrahim) bwe yagamba Kitaawe nti owange Taata lwaki osinza ebitawulira, era ebitalaba, era ebitayinza kukugasa mu kintu kyonna
  43. Owange Taata mazima nze nzigyiddwa okumanya okutaakujjira, n'olwekyo ngoberera, nja kukulungamya ku kkubo eggolokofu
  44. Owange Taata tosinzanga Sitane, mazima Sitane yajeemera Katonda omusaasizi
  45. Owange Taata mazima nze ntya ebibonerezo okuva ewa Katonda omusaasizi okukutuukako, olwo n'oba mukwano gwa Sitane
  46. (Kitaawe) naagamba nti owange Ibrahim oyagala kuva ku ba Katonda bange, bwotookikomye nja kukukuba amayinja, nviira mangu ssaagala kukulaba
  47. Ibrahim naagamba nti emirembe gibe ku ggwe, nja kwegayirira Mukama Omulabirizi wange akusonyiwe, mazima yye bulijjo annumirwa
  48. Nja kubaviira (mbaleke) n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda era nja kusaba Mukama Omulabirizi wange, nkakasa siyinza kuba mwonoonefu olw'okusinza Mukama Omulabirizi wange
  49. Bwe yabaviira naabaleka n'ebyo bye basinza nebalekawo Katonda, twamugabira Ishak, ne Yakubu buli omu ku bombi twamufuula Nabbi
  50. Era twabagabira okuva mu kusaasira kwaffe, netubateerawo okwogerwako okw'amazima okubafuula ab'awaggulu
  51. Yogera mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Musa, mazima yye yali mulondemu, era yali mubaka era Nabbi
  52. Twamukoowoola ku ludda olwa ddyo olw'olusozi (Sinai), netumusembeza nga twogera naye
  53. Era netumuwa okuva mu kusasira kwaffe Mugandawe Haruna nga (naye) Nabbi
  54. Era yogera nga ojja mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Ismail, mazima yye yali mutuukiriza wa ndagaano, era yali Mubaka nga Nabbi
  55. Yalinga alagira abantu be okusaala n'okutoola Zakka. Era bulijjo nga asiimwa ewa Mukama Omulabiriziwe
  56. Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Idrisa, mazima yye yali musuffu mu mazima nga Nabbi
  57. Era twamusitula netumuwa ekifo ekya waggulu
  58. Abo beebo Katonda beyagabira ebyengera mu ba Nabbi nga bava mu bazzukulu ba Adam, ne mu abo betwatwala ne Nuhu mu lyato, ne mu bazzukulu ba Ibrahim, ne Israil ne mu abo betwalungamya, era netubaawula. Ebigambo bya Katonda omusaasizi buli lwe byabasomerwanga bakkanga wansi nga bavunnama era nga bakaaba
  59. Olwo nno oluvanyuma lwabwe wajjayo abaabaddira mu bigere, abataafa ku sswala, era nebagoberera eby'obwagazi, luliba lumu bagenda kusisinkana okufaafaaganirwa n'okuzikirira
  60. Okugyako oyo eyeenenya, era nakkiriza era naakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuyingira e jjana era tebagenda kulyazaamaanyizibwa kintu kyonna
  61. (Baliyingira) e jjana ez'olubeerera, ezo Katonda omusaasizi ze yalagaanyisa abaddube nga tebazirabyeko, mazima endagaano ye erina kutuukirira
  62. Tebagenda kuwulira mu yo (e jjana) luyoogaano wabula (baliwulira) bigambo bya mirembe byereere baliweebwa riziki yaabwe mu yo enkya n'olweggulo
  63. Eyo ye jjana, eyo gye tulisikiza, abamu ku baddu baffe, oyo eyali atya Katonda
  64. Era ffe (ba Malayika) tetukka okugyako lwa kiragiro kya Mukama Omulabiriziwo, bibye byonna ebiri mu maaso gaffe n'ebiri emabega waffe, n’ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabiriziwo tabeerangako eyeerabira
  65. (Katonda) ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi kale nno musinze ogumiikirize ku kumusinza (bwotokola ekyo) abaffe omanyiiyo amufaanana
  66. Omuntu agamba nti bwendiba nfudde ate ndiggyibwa (mu ntaana) nga ndi mulamu
  67. Abaffe omuntu tajjukira nti mazima ffe twamutonda omulundi ogwasooka nga yali tabangako kintu kyonna
  68. N'olwekyo ndayidde Mukama omulabiriziwo, ddala tugenda kubazuukiza ne (Sitane) nazo tuzizuukize, oluvanyuma tugenda kubaleetera ddala awali omuliro Jahannama nga bakutaamiridde
  69. Oluvanyuma ddala tugenda kuggya mu buli kibiina buli yenna eyali asinga okwewaggula ku Katonda ow'ekisa ekingi
  70. Oluvanyuma ffe tuliba tumanyi nnyo abo abasinga okusaanira okugwesogga
  71. Tewali n'omu yenna ku mmwe okugyako w'a kuguyitako, ekyo ku Mukama omulabiriziwo kikakafu ekyaggwa edda
  72. Oluvanyuma tuliwonya abo abatya Katonda, olwo nno tuleke mu gwo abeeyisa obubi nga bagangalamye
  73. Bwe bisomebwa ku bo ebigambo byaffe nga binnyonnyofu, abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza, nti ku bibiina ebibiri kiriwa ekirina ekifo ekirungi? era abalina enkungaana ezisinga obulungi
  74. Mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe, nga abo be baali basinza ebintu ebirungi nendabika ennungi
  75. Bagambe nti oyo yenna abeera mu bubuze, Katonda omusaasizi amulindiriza olulindiriza, okutuusa nga balabye bye baalagaanyisibwa, kabibe bibonerezo oba essaawa ey'enkomerero olwo nno bagenda kumanya ani alina ekifo ekibi era ani alina eggye erinafu
  76. Ate abo abaalungama Katonda abongera bulungamu, byo ebisigalawo ebirungi y'empeera esinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, eyo nga mpeera era nga bwe buddo obusinga obulungi
  77. Abaffe olabye oyo alimbisa ebigambo byaffe, era naagamba nti (ne ku nkomerero) ngenda kuweebwa emmaali n'abaana
  78. Abaffe yasobola okulaba ebyekusifu, oba yafuna ewa Katonda omusaasizi endagaano, (atuuke okugamba nti aliba ne mmaali n'abaana ku nkomerero)
  79. Si bwe guli, tujja kuwandiika buli kyayogera tumulindirize ku bibonerezo olulindiriza
  80. Olwo nno tweddize ebyo bye yagamba, ate nga agenda kutujjira nga ali yekka nga talina kyalina
  81. Era beeteerawo bye basinza nebaleka Katonda omu, mbu olwo balyoke babeere eri bano abataddewo abawi b'obuwagizi
  82. Ssi bwe guli, bajja kuwakanya eky'okubasinza bafuuke ekyennyume kyabwe
  83. Tolaba nti mazima ffe tusindika Sitane eri abakaafiiri nga zibawagira oluwagira
  84. Toyanguya kubasabira kuzikirira, mazima ennaku zaabwe tuzibabalira bubalizi
  85. (Bategeeze) olunaku lwe tulikunganya abatya Katonda, netubatwala ewa Katonda omusaasizi nga bagenyi
  86. Ate tusindiikirize aboonoonyi, nga tubatwala ku muliro Jahannama nga balinga ensolo ezigenda okunywa amazzi
  87. Tebaliba na buyinza bwa kuwolereza, wabula oyo eyafuna endagaano ewa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi
  88. (Abatakkiriza) bagamba nti Katonda omusaasizi yeeteerawo omwana
  89. Mazima mu kwogera ekyo muleese ekintu ekibi ennyo
  90. Eggulu omusanvu kumpi okweyuza olw'ekyo, n'ensi ebula okwatikayatika n'ensozi kumpi kugwa nga zimogosemogose
  91. Olw'okugamba nti Mukama Katonda Omusaasizi alina omwana
  92. Ate nga tekigwana ku Katonda omusaasizi kweteerawo mwana
  93. Tewali kitonde kiri mu ggulu musanvu n'ensi okugyako nga kigenda kujja ewa Katonda omusaasizi nga kiri mu ngeri ya buddu
  94. Mazima yabakomekkereza, era naababala olubala
  95. Era bonna bagenda kumujjira olunaku lw'enkomerero kinnoomu
  96. Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, Katonda ajja kubateerawo okwagalwa
  97. Mazima (Kur’ani) twagifuula nnyangu ku lulimilwo, obe nga osanyusa nayo abo abatya Katonda, ate obe nga otiisa nayo abo abayitirivu b'okugiwakanya
  98. (Abantu ba) mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe (bano abalimbisa Kur’ani), abaffe olina gwolabako mu bo, oba gwowulizaako olukwakwayo