15.The Rock
- Alif Laam Raa, zino ze zimu ku Aya z'ekitabo, era nga ye Kur’ani ennyinyonnyofu
- Lumu, abo abaakaafuwala balyegomba okuba nti singa baali basiraamu
- Baleke balye, era beeyagale era essuubi (mu kuwangaala) libalabankanye, kyaddaaki balimanya
- Tetwazikiriza kitundu kyonna okugyako nga kyalina ekiseera ekimanyiddwa
- Tewali bantu bakulembera ntuuko yaabwe era tebayinza kusaba kwongerwayo (okusaba kwa bwe ne kuyitamu)
- Nebagamba (abakaafiiri) nti owange ggwe eyassibwako ekijjukiza (Kur’ani) mazima ddala ggwe oli mulalu
- Waakiri singa otuleetera ba Malayika bwoba nga oli mu boogera amazima
- (Katonda naagamba) nti: tetussa ba Malayika okugyako lwa nsonga n'olwekyo (singa twabaweereza ba Malayika) tebandibadde balindirizibwa
- Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Kur’ani) era mazima ffe tujja kugikuuma
- Mazima nga tonnajja twatumira ebibiina ebyakulembera
- Era tewali mubaka yenna eyabajjira okugyako baamujeejanga
- (Nga bwe twayingiza obukaafiiri mu mitima gya bakaafiiri abaakulembera) bwe tutyo bwe tubuyingiza mu mitima gy'aboonoonyi (abo mu bantubo)
- (Obubaka bwo) tebabukkiriza ate nga ekyatuuka ku baabakulembera kimanyiddwa
- Era singa twabaggulirawo omulyango mu ggulu nebaba nga balinnyira mu gwo (nga bwe bakka)
- Baaligambye nti mazima amaaso gaffe gatamiiziddwa si nakindi ffe tuli bantu abaloge
- Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi
- Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda
- Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde
- N’ensi twagigaziya, netugisimbamu enkondo (ensozi), netumeza mu yo buli kintu nga kya kigero
- Netubateera (mmwe) mu yo ebiyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'ebiyimirizaawo obulamu bw'ebyo bye mutaliisa
- Tewali kintu kyonna okugyako nga ffe tulina amawanika g'akyo ate tetubissa okugyako nga kigero ekisaliddwawo
- Era tusindika empewo eyamba ebire okubaamu amazzi, olwo nno netussa enkuba okuva waggulu, netubanywekereza nayo mmwe, so nga si mmwe muba mugaterese
- Era mazima ffe tuwa obulamu, era netutta era ffe tugenda okusigalawo
- Era mazima ddala twamanya abalisooka mu mmwe (okufa) era mazima twamanya abalisembayo
- Era mazima Mukama omulabiriziwo yaali bakunganya (ku lunaku lw'enkomerero) anti mazima yye mugoba nsonga, muyitirivu wa kumanya
- Mazima twakola omuntu (Adam) mu bbumba ettabule nga liddugavu
- N'amajjini twagatonda oluberyeberye mu muliro omuyitirivu ogwokya ennyo
- Jjukira ggwe (Nabbi Muhammad) Mukama omulabiriziwo bwe yagamba ba Malayika nti: mazima nja kutonda omuntu nga muggya mu bbumba ekkaze
- Olwo nno bwe nnamala okumwenkanyankanya, nenfuuwa mu ye omwoyo oguva gyendi kale nno mugwe wansi nga mumuvunnamira
- Olwo ba Malayika bonna nebavunnama
- Okugyako Ibuliisu yagaana okubeera mu bavunnama
- (Katonda) kwe kugamba nti: owange ggwe Ibuliisu ki ekikugaanye okuvunnama n'abavunnami
- (Ibuliisu) nti: sandibadde avunnamira omuntu, gwotonze nga omuggya mu bbumba ekkaze eriddugavu
- (Katonda) kwe kumugamba nti gifulume (e jjana) anti ggwe ogobeddwa okuva mu kusaasira kwa Katonda
- Era mazima ekikolimo kibeere ku ggwe okutuusiza ddala olunaku lw'okubalibwa
- (Ibuliisu) naagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi wange, nnindiriza okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa
- (Katonda) naagamba nti kale oli mubalindiriziddwa
- Okutuusa ku lunaku lw'ekiseera ekimanyiddwa (ebitonde byonna lwe birizikirira)
- (Ibuliisu) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nga bwombuzizza, mazima nja kubawundira kuno ku nsi (obujeemu n'ebibi bibe nga by'ebirungi mu maaso gaabwe) era nja kubabuliza ddala bonna
- Okugyako abaddubo mu bo abalondobemu
- (Katonda) naagamba nti lino kkubo ggolokofu
- Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza, mpozzi abo abakugoberera mu babuze
- Era mazima omuliro Jahannama gwabalagaanyisibwa bonna
- Gulina emiryango musanvu, buli mulyango gulina mu bo omuteeko ogwagugerekerwa
- Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n'ensulo nga zikulukuta
- (Baligambibwa) nti mugiyingire nga muli mirembe nga temulina kutya kwonna
- Netujjawo buli kakuku akali mu bifuba bya bwe nebaba ab'oluganda. Olwo nno nga bali ku bitanda nga batunuuliganye (banyumya)
- Tebagenda kutuukibwako kukoowa era nga bwe batagenda kufulumizibwamu
- Tegeeza abaddu bange nti nze musonyiyi ennyo omusaasizi
- Era nti mazima ebibonerezo byange by'ebibonerezo ebiruma ennyo
- Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim
- Mu kiseera bwe baayingira we yali nebagamba nti mirembe (Salaamu) naagamba (Ibrahim) mazima ffe tubatidde
- Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo
- (Ibrahim) naagamba nti: mumpa amawulire ag'essanyu nga n'obukadde bumaze okunzingiza olwo mawulire ga ssanyu nnabaki
- Nebagamba nti, tukuwadde amawulire ag'essanyu mu bwesimbu, tobeeranga mu bakutuka n'okusuubira
- Naagamba nti nga ani akutuka n'okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe mpozzi ababuze
- Naagamba nti kiki ekibaleese abange mmwe abatumiddwa
- Nebagamba nti: mazima ffe tusindikiddwa eri abantu aboonoonyi
- Ng'oggyeko abenju ya Luutu mazima ddala ffe bonna tujja kubawonya
- Okugyako mukyalawe, twakisalawo nti mazima yye waakubeera mu abo abataligenda (naye)
- Ababaka bwe baatuuka awali abantu ba (Nabbi) Luutu
- (Luutu) naagamba nti mazima mmwe muli abantu abatamanyidddwa
- Nebagamba nti: ssi ekyo kyokka wabula tukujjidde n'ekyo kye baali babuusabuusa
- Era tukuleetedde amazima, era ddala ffe bye twogera bituufu
- Kale tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro era (ggwe) baveeko emabega tewaba omu ku mmwe akyuka, era mugende eyo gye mulagiddwa
- Netumuwa ekiragiro nti abasembayo ku bo baakuggwawo nga busaasaana
- Abantu bo mu kibuga nebajja (ewa Luutu) nga bafa essanyu (olw'abagenyi abavubuka abaali bakyaddeyo)
- (Luutu) naagamba nti mazima abo bemulaba bagenyi bange temunsonyiwaza
- Era mutye Katonda temunswaza
- Nebagamba nti: abaffe tetwakugaana (okuleeta wano) abantu
- Naabagamba nti bawala bange baabo bwe muba nga mulina kukikola
- (Katonda agamba nti) ndayidde obulamu bwo (ggwe Muhammad) mazima bo mu kukola ebyo byonna, baali babuyaanira mu butamiivu bwabwe
- Okubwatuka (okwamaanyi) nekubatuukako nga enjuba evaayo
- (Netuvuunika ebyalo byabwe) netuzza waggulu waabyo wansi, netubafukirira amayinja ag'o mu bbumba eryokye
- Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abo abalondoozi b'obubonero
- Era mazima ebyalo ebyo (ebyazikirizibwa) biri ku kkubo erikyaliwo (agendayo asobola okubiraba)
- Mazima mu ebyo mulimu akabonero (akalaga obusobozi bwa Katonda) eri abakkiriza
- Era mazima n'abantu b'omukibira baali beeyisa bubi
- Netubazikiriza era mazima abantu ab'emirundi ebiri (aba Luutu ne Swaibu) baali ku kkubo erimanyiddwa (buli ayitawo alabawo)
- Mazima abantu be Hijiri baalimbisa ababaka (bwe baalimbisa Nabbi Swaleh)
- Era netubaleetera obubonero bwaffe naye nebabwawukanako
- Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe
- Okubwatuka nekubakwata nga bukya
- Ebyo bye baakolanga tebyabayamba
- Era tetwatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi okugyako ku lwakigendererwa, era nti mazima essaawa esembayo ejja kutuuka, kale nno lekera olulekera olulungi
- Mazima Mukama omulabiriziwo yye ye mutonzi amanyi ennyo
- Era mazima twakuwa ayaa omusanvu eziddinganwa (Surat Al Fatiha) ne Kur’ani ey'ekitiibwa (yonna)
- Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza
- Era bagambe nti mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu
- Nga bwe twassa ku abo abagabanya (mu bubaka bwa Katonda)
- Abo abafuula Kur’ani ebiwayi
- Ndayira Mukama omulabiriziwo nti mazima bonna tugenda kubabuuliza ddala
- Ku ebyo bye baakolanga
- Kale yogera mu lwatu ekyo ekikulagirwa, era oyawukane ku bagatta ku Katonda ebintu ebirala
- Mazima ffe twakumalira abajeeja
- Abo abassa ku Katonda ba katonda abalala, nebwebuliba ddi balimanya
- Tumanyidde ddala nti mazima ggwe ekifuba kyo kifunda olw'ebyo bye boogera
- (Ggwe kyoba okola) tendereza ebitendo bya Mukama omulabiriziwo era obeere mu bavunnama
- Era sinza Mukama omulabiriziwo okutuusa obukakafu (okufa) lwe bulikujjira