12.Joseph

  1. Alif Laam Raa, bino bigambo by'ekitabo ekyeyolefu
  2. Mazima ffe twakissa (ekitabo) nga kyakusoma nga kiri mu luwarabu mube nga mutegeera
  3. Ffe tukutegeeza ebyafaayo ebisinga obulungi nga tukozesa obubaka bwe twakussaako (nga nabwo) ye Kur’ani eno, newaakubadde nga mu kusooka wali mu batamanyi
  4. Jjukira Yusuf bwe yagamba Kitaawe nti: owange Taata mazima nze nnaloose emmunyeenye kumi n'emu, n'omwezi, n'enjuba nabirabye nga binvunnamidde
  5. (Kitaawe Yakubu) naagamba nti owange Katabani kange, ekirooto kyo tokinyumiza bagandabo nebakukolera enkwe mazima, bulijjo Sitane ku muntu mulabe ow'olwatu
  6. Mu ngeri y'emu Mukama omulabiriziwo agenda ku kulonda era akuyigirize okuvvuunula endooto era ajjulize abantu ba Yakub ekyengera kye, nga mu kusooka bwe yakijjulizza bakadde bo bombi Ibrahim ne Ishaka. Mazima Mukama omulabiriziwo mumanyi nnyo era mugobansonga
  7. Mazima (mu kyafaayo kya) Yusuf ne bagandabe mulimu obujulizi eri ababuuza
  8. Jukira (baganda ba Yusuf) bwe baagamba nti kirabika Yusuf ne Mugandawe (bwe bazaalibwa mu nnyabwe) be baganzi ewa Kitaffe okusinga ffe ate nga tuli bangi, mazima Kitaffe ali mu bubuze obuyitirivu
  9. (Omu n'aleeta ekiteeso nti) Yusuf mumutte oba mumukasuke mu nsi (etamanyiddwa) olwo mwekomye okwagalwa Kitammwe, era oluvanyuma lw'ekyo musobola okubeera abantu abalongoofu
  10. Omwogezi omulala mu bo naagamba nti temutta Yusuf wabula mumusuule wansi mu luzzi abamu ku batambuze bajja kumulonda, bwe muba nga muteekwa buteekwa okubaako kye mukola
  11. (Ebyo nga biwedde) baagamba nti owange Kitaffe lwaki totwesiga ku Yusuf ate nga naffe tumufaako
  12. Mutuwe tugende naye enkya, asanyuke, era azannye era mazima ffe tujja kumukuuma
  13. (Yakub) naagamba nti mazima nze kimpisa bubi okuba nga mumutwala, era ntya omusege okumulya nga mmwe mumulagajjalidde
  14. Ne bagamba nti singa omusege gumala ne gumulya nga ate tuli bangi mazima ffe olwo tubeera tufaafaaganiddwa
  15. Bwe baagenda naye era nebassa kimu okumuteeka mu kinnya wansi mu luzzi, netumutumira nti mazima ddala ogenda okubategeeza ekigambo kya bwe kino nga bo tebakyakifaako
  16. Olwo nebadda ewa Kitaabwe olw'eggulo nga bakaaba (naye nga kwali kwekaabya)
  17. Nebagamba nti owange Kitaffe mazima ffe twagenze netusindana mu kudduka netuleka Yusuf awabadde ebintu byaffe omusege negumulya, tojja kutukkiriza newaakubadde nga twogera mazima
  18. Nebajja nga batadde ku kyambalo kye omusaayi ogw'obulimba (Yakub naagamba nti) wabula emyoyo gya mmwe gyatetenkanyizza negilungiya ekintu kino gye muli. Obugumiikiriza bulungi era Katonda ye Muyambi ku ebyo bye mwogera
  19. Abatambuze nebajja ne batuma abakimira amazzi nassa endobo ye olwajigyayo (wansi mu luzzi bwati naalaba omulenzi), naagamba nti “Neesiimye neefunidde omulenzi” ne bamukukusa nga bamufudde kya maguzi. Katonda mumanyi nnyo ku ebyo bye baali bakola
  20. Nebamutunda omuwendo omutono, Dirihamu mbale bubazi, anti baali tebamwetaaga
  21. Oyo eyamugula ow'emisiri naagamba mukyalawe nti mulabirire, muyise bulungi sinakindi ayinza okutugasa (mu maaso eyo) oba tumufuule omwana (Katonda kwe kugamba nti) bwe tutyo bwe twasobozesa Yusuf (A.S) okubeera mu nsi era tube nga tumuyigiriza okuvvuunula endooto. Era bulijjo Katonda ekigambokye kiwangula, wabula mazima abantu abasinga obungi tebamanyi
  22. Bwe yasajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya, era bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi
  23. (Ekyo nga kiwedde) ate muka nnyinimu oyo mu nju mweyasulanga naamwegwanyiza naggala enzigi, naamugamba nti “nzuno nkwewadde”. (Yusuf) naagamba nti: “nsaba obukuumi bwa Katonda”, ekituufu kiri nti Mukama wange (balo) ampisizza bulungi (siyinza kukikola) mazima anti abeeyisa obubi tebagenda kwesiima
  24. Mazima (omukyala) yamwegomba ne (Yusuf) namwegomba (omukyala), naye singa (Yusuf) teyalaba kabonero ka Mukama omulabiriziwe (yandigudde mu nsobi) twakola bwe tutyo tube nga tumuwugulako obwonoonefu n'obuwemu, anti mazima ye wa mu baddu baffe abasengejje
  25. Nebagobagana nga badda ku mulyango, (mu mbeera eyo) omukyala naayuza ekyambalo (kya Yusuf) emabega, nebasanga bba (w'omukyala) ku mulyango, omukyala naagamba nti kibonerezo ki ekisaanira okuweebwa omuntu ayagala okukola ku mukyalawo ekivve,okugyako okuba nga asibwa oba okumussaako e kibonerezo ekiruma
  26. (Yusuf) naagamba nti ye yanneegwanyizza, omu ku bantu bo mu nyumba y'omukyala naawa obujulizi nti ekyambalokye (Yusuf) bwe kiba kiyuziddwa mu maaso gaakyo, omukyala yaanaaba ayogedde amazima ate yye (Yusuf (naaba ow'omu balimba)
  27. Naye ekyambalokye (Yusuf) bwe kinaaba nga kiyuziddwa mabega (omukyala) anaaba alimbye, olwo nno ye naabeera mu ba mazima
  28. (Olwo bba w'omukyala) bwe yamala okulaba ekyambalokye nga kiyuziddwa mabega kwe kugamba nti “ezo nkwe zammwe (mwe abakyala) anti mazima bulijjo enkwe za mmwe za kabi nnyo
  29. Gwe (Yusuf) bino biveeko (tobinyega) ate ggwe weetonde olw'ekibikyo, mazima ddala ggwe obadde mu basobya
  30. Abakyala bo mu kibuga nebagamba nti Muka omukulu yeegwanyizza omuweerezaawe! mazima okwagala kumumazeemu, mazima ffe ye tumulaba nga ali mu bubuze obweyolefu
  31. Omukyala bwe yawulira e bigambo abakyala bye basaasaanya, yabatumira naabategekera ekifo aw'okutuula buli omu naamuwa akambe naagamba nti: (Yusuf) fuluma ogende gye bali, bwe baamulaba ne bamutendereza ne beesala engalo, era nebagamba nti: ono ssi muntu ono tali okugyako Malayika ow'ekitiibwa
  32. Omukyala naagamba nti oyo nno yooyo gwe mubadde munnenyeza. Yye, kituufu namwegwanyizza naagaana, wabula bwataakole ekyo kye mmulagira aggya kusibirwa ddala era abeere mu banyomebwa
  33. (Yusuf) naagamba nti: Ayi Mukama omulabirizi wange ekkomera lyenjagala okusinga ekyo kye bampitira, bwotamponye nkwe zaabwe nja kugwa mu mitego gya bwe, era mbe mu batategeera
  34. Awo nno Mukama omulabiriziwe naamwanukula naamuwugulako enkwe zaabwe anti mazima yye awulira nnyo mumanyi nnyo
  35. (Bwe baamala okutunula mu bujulizi) kyabalabikira nga balina kumusiba okumala ekiseera
  36. Abavubuka babiri, baayingira naye ekkomera, (nga bali mu kkomera buli omu yalaba endooto) omu ku bo naagamba nti mazima nze naloose nga nsogola omubisi, omulala naagamba nti naloose nga neetisse ku mutwe gwange omugaati ng'ebinyonyi bigulyako, tubuulire bivvuunulwa bitya? Mazima ffe tukulaba nga oli mu balongoosa
  37. (Yusuf) naabagamba nti emmere gye muweebwa tejja kubatuukako okugyako nga mmaze okubavvuunulira (buli omu ekirootokye) nga tennaba kubatuukako, ekyo nno mmwe kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yanjigiriza, anti mazima nze nayawukana n'ekibiina ky'abantu abatakkiriza Katonda, nga era bo bawakanya olunaku lw'enkomerero
  38. Era nengoberera eddiini ya bakadde bange Ibrahim ne Ishaka ne Yakub, teki kusaanirangako kugatta ku Katonda kintu kyonna. Byonna ebyo bye bimu ku birungi bya Katonda bye yatugabira era bye yagabira abantu abalala. Naye abantu abasinga obungi tebeebaza
  39. (Yusuf naabagamba nti) abange mmwe abasibe ababiri, ba katonda ab'enjawulo be balungi okusinga Katonda omu nantalemwa
  40. Bye musinza ne muleka Katonda, tebirina kye biri okugyako okuba amannya obunnya ge mwatuuma mmwe ne bakadde ba mmwe. Katonda tabissangako bujulizi bwonna, ate nga okusalawo kwonna tekuli okugyako mu mikono gya Katonda (ate nga) yalagira mube nga temusinza okugyako ye yekka eyo nno y'eddiini ennambulukufu, wabula abantu abasinga obungi tebamanyi
  41. Abange mmwe abasibe ababiri, yye, omu ku mmwe ajja kubeera mu senero ewa Mukama we, ate yye, omulala ajja kukomererwa ku musaalaba, ebinyonyi bimulye ku mutwe, ekigambo kiwedde ekyo kye mubadde mubuuza
  42. (Yusuf) naagamba oyo gwe yalinamu essuubi ly'okuwona ku bombi nti: onjogererayo nga otuuse ewa Mukama wo (kabaka), wabula Sitane neemwerabiza okumwogererayo ewa Mukamaawe, olwo nno naatuula mu kkomera emyaka egiwera
  43. (Lumu) Kabaka naagamba nti mazima nze naloose nga ndaba ente musanvu engevvu nga ziriibwa emigogge gye nte musanvu, era nendoota ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebikoola musanvu ngabikaze, abange mmwe abakungu munnyinnyonnyole endooto yange bwe muba nga mumanyi okuvvuunula amakulu g'ebirooto
  44. Nebagamba nti: okwo kulogojjana kwa birooto ate ekirala tetumanyi kuvvuunula birooto
  45. Omu ku basibe ababiri eyawona (e kkomera) naagamba era nga yajjukira wamaze kuyitawo kaseera nti nze njakubabuulira amakulu g'ekirooto ekyo, kale muntume
  46. (Bwe yatuuka mu kkomera) naagamba nti Yusuf owange ggwe omwogera mazima tubuulire amakulu g'ekirooto nga ente musanvu engevvu nga ziriibwa emigogge gy'ente musanvu, ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebirala musanvu bikalu, olwo nno nzire eri abantu mbabuulire babe nga bamanya
  47. Yusuf naagamba nti mujja kulimira emyaka musanvu egiddiringanye, bye munaakungula mubireke mu birimba byabyo okugyako bitono ebyo bye munaalya
  48. Oluvanyuma lw'ekyo, wajja kujja emyaka musanvu egy'obuzibu egiggya okumalawo byonna bye mwagiterekera okugyako ebitono ennyo bye mulisalawo bisigalewo (nga nsigo)
  49. Oluvanyuma lw'ebyo wagenda kujjawo omwaka abantu mwebalinywesebwa era mu mwaka ogwo balisobola okusogola ku mubisi
  50. Kabaka naagamba nti: mumundeetere, gwebaatuma bwe yamala okumutuukako (Yusuf) naagamba nti ddayo ewa Mukamaawo omubuuze ebikwata ku bakyala abo abeesala engalo, mazima Mukama omulabirizi wange amanyidde ddala ebikwata ku nkwe zaabwe
  51. (Kabaka) yagamba (abakyala abo nti) kiki ekyabatuusa kukwegwanyiza Yusuf, nebagamba nti amazima ga Katonda tetumumanyangako kibi kyonna, muka omukulu naagamba nti kaakati amazima geeyolese nze namwegwanyiza era mazima yye wa mu bantu aboogera amazima
  52. (Yusuf naagamba nti ekyo kyali bwekiti Kabaka) asobole okumanya nti nze sigezangako kumukumpanya nga taliiwo, bulijjo Katonda talungamya nkwe za bakumpanya
  53. Era sseetukuza mazima omwoyo (gw'omuntu) gulagira nnyo okwonoona, okugyako oyo Mukama omulabirizi wange gwaba asaasidde anti mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi
  54. Kabaka naagamba nti mumundeetere, mwekomye, bwe yamala okwogera naye (Kabaka) naagamba nti mazima ggwe okuva olwa leero oweereddwa obuvunaanyizibwa era oli mwesigwa
  55. (Yusuf) naagamba nti (bwe kiba bwe kityo) mpa obuyinza ku mawanika g’omunsi (eno Misiri) mazima nze nsobola obuwanika era omumanyi ennyo
  56. Bwe tutyo nno twawa Yusuf obuvunaanyizibwa mu nsi (Misiri) nga adda eno n'eri mu yo nga bwayagala. Tussa okusaasira kwa ffe ku oyo gwe tuba twagadde era tetuyinza butasasula bakozi ba bulungi
  57. Empeera y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abakkiriza ne baba nga batya Katonda
  58. Awo nno baganda ba Yusuf bajja ne bayingira we yali era n'abamanya nga ate bo tebamutegeera
  59. Bwe yamala okubategekera bye banaatwala, naagamba nti lwe mulidda mundeeteranga muganda wa mmwe mu Kitammwe temulaba nti mazima nze ntuukiriza ebipimo era nze nsinga okuyisa obulungi abagenyi
  60. Bwe mutalimundeetera temugenda kupimirwa mmere okuva gyendi era temunsembereranga
  61. Nebagamba nti tujja kusaba Kitaawe amutuwe era mazima ddala ffe tugenda kukikola
  62. (Yusuf) naagamba abavubuka be nti musse sente zaabwe mu migugu gya bwe banaakimanyira eyo nga batuuse kibenga kibasikiriza okudda
  63. Bwe baddayo ewa Kitaabwe, baagamba nti owange Kitaffe tugaaniddwa okupimirwa (emmere omulundi omulala bwe tutagenda ne Beniyamini) kale tukkirize tugende ne Muganda waffe tube nga tupimirwa era mazima ddala ffe tugenda kumukuuma
  64. Yakub naagamba nti abaffe munsuubira okubeesiga ku ye, okugyako nga bwennabeesiga ku mugandawe oluberyeberye (nemutatuukiriza), Katonda ye mukuumi asinga era yye, ye musaasizi asinga abasaasizi bonna
  65. Bwe baasumulula emigugu gya bwe (nga batuuse ewaabwe) ne bagwa ku sente zaabwe nga zibaddiziddwa ne bagamba nti owange Taata ate kiki ekirala kye twagala, sente zaffe ziizino zituddiziddwa, kye tulina okukola kuleetera bantu baffe mmere, era Muganda waffe tujja kumukuuma, olwo nno tuddeyo tweyongere ekipimo eky'etikkibwa engamiya, era ekyo ekipimo kyangu nnyo okufuna
  66. Yakub naagamba nti sijja kumubawa kugenda naye okutuusa nga mumpadde obweyamo eri Katonda nti mazima ddala mujja kumunkomezaawo, okugyako nga mwetooloddwa (ne mutasobola kumutaasa). Bwe baamala okumuwa obweyamo bwa bwe naagamba nti Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera
  67. Era naagamba nti abange baana bange (bwe mutuukayo) temuyingirira mu mulyango gumu, wabula muyingirire mu milyango gya njawulo, (ngambye ntyo) wabula sisobola kubamalira kintu kyonna ewa Katonda anti okulamula kwonna tekulina gye kuli okugyako ewa Katonda, ye yekka gwe nneesize, anti abeesiga bonna ye yekka gwe bateekwa okwesiga
  68. Bwe baayingira nga Kitaabwe bwe yabalagira ekitaali kya kubagasa kintu kyonna ewa Katonda okugyako okutuukiriza ekyetaago ekyali mu mutima gwa Yakub, era mazima yye yamanyira ddala bye twamuyigiriza naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi
  69. Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza gyali Mugandawe naagamba nti: mazima ddala nze Mugandawo (eyabula) kale nno tonakuwala olw'ebyo bye baakolanga
  70. Bwe yamala okubategekera bye batwala yassa ekisena mu mugugu gwa Muganda we, olwo nno omulangirizi naalangirira nti, abange mmwe abatambuze abagenda mazima ddala mmwe muli babbi
  71. Nebagamba nga boolekedde bali (ababagamba eby'obubbi) kiki ekibabuzeeko
  72. Nebagamba nti ekisena kya Kabaka tetukiraba era oyo yenna anaakireeta ajja kuweebwa empeera ey'etikkibwa e ngamiya, era ekyo nze nkyeyimiridde
  73. Nebagamba nti tulayira Katonda mazima mukimanyi tetwajja kwonoona mu nsi, (eno) era tetubangako babbi
  74. Nebabagamba nti kibonerezo ki (ekimugwanira) bwe munaaba abalimba
  75. Nebagamba nti ekibonerezokye, oyo yenna ekisena kya Kabaka gwe kinaasangibwa mu mugugugwe ye y'anaafuuka omutango gwa kyo, (ewaffe) bwe tutyo bwe tubonereza abeeyisa obubi
  76. (Yusuf naayaza) nga atandikira ku migugu gya bwe nga tannatuuka ku mugugu gwa Mugandawe olwo naakijja mu mugugu gwa mugandawe, bwe tutyo bwe twayamba Yusuf naasalira bagandabe amagezi (anti) yali tayinza kusigaza mugandawe okusinziira ku nkola ya Kabaka (we Misiri) singa Katonda teyayagala, tusitula amadaala g'abo betuba twagadde era waggulu wa buli mumanyi waliyo omumanyi (asingako)
  77. Nebagamba nti (Biniyamini) bwaba abbye Mugandawe yabba dda, Yusuf naakyesigaliza mu mutimagwe naatabaatulira, naagamba mmwe babi okusinga, era Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mwogera
  78. (Nebagamba nti owange ggwe Kamalabyonna mazima Biniyamini) aliko Kitaawe Musajja mukulu mukadde, kale mu kifo kye sigaza omu ku ffe, mazima tukutwala okuba nga oli mu bakozi b'obulungi
  79. (Yusuf) naagamba nti Katonda akisse wala okuba nga tukwata atali oyo gwe tukutte n'ebintu byaffe bwe kiba kityo olwo nno tuba balyazaamaanyi
  80. Bwe baamala okuba nga tebakyamulinamu ssuubi nebadda ebbali (begeyeemu), Mukulu waabwe naagamba nti temukimanyi nti Kitammwe yabaggyeko obweyamo eri Katonda ate nga oluberyeberye mulina engeri gye mutaayisaamu Yusuf bulungi, n'olwekyo sigenda kuva mu nsi eno okugyako nga Kitange anzikirizza oba Katonda nansalirawo. Era yye yaasinga abasalawo bonna
  81. Muddeeyo eri Kitammwe mumugambe nti: owange Kitaffe mazima Mutabaniwo yabba tetuwa bujulizi okugyako ku ekyo kye tumanyi, era tetubangako ba kalondoozi ku ebyo ebyekusifu
  82. Buuza abantu bo mu kitundu gye twali, obuuze n'ekibinja ky'abantu kye twaddiramu era mazima ddala ffe tuli b'amazima
  83. (Yakub) naagamba nti wabula emyoyo gya mmwe gyabayiiyirizza ekintu. okugumiikiriza kulungi, nina essuubi nti bonna Katonda agenda kubandeetera bonna. Mazima ddala y'amanyi ennyo era mugoba nsonga
  84. Awo nno naabaviira era naagamba nti: ndabye n'omwana wange Yusuf, amaasoge negatukula olw'obunakuwavu, era nga yye munyiikaavu
  85. Nebagamba nti amazima ga Katonda era okyajjukira Yusuf okutuusa lwokonzibye n'otuuka okubeera mu bagenda okufa
  86. Naagamba nti mazima ebizibu byange ne nnaku yange mbiroopera Katonda era mmanyi okuva eri Katonda bye mutamanyi
  87. Abange baana bange mugende mugezeeko okunoonya ebifa ku Yusuf ne Mugandawe, temugwangamu ssuubi ku kusaasira kwa Katonda mazima tewali akutuka ssuubi na kususaasira kwa Katonda okugyako abantu abakaafiiri
  88. Bwe baayingira awaali Yusuf ne bagamba nti owange kamala byonna ekyeya kituli bubi ffe n'abantu baffe, ate bye twagala okuwaanyisaamu emmere bye tuleese ssi birungi, wabula ggwe tujjulize byotupimira era otusaddaakire (okkirize tugendere awo) mazima Katonda asasula abasaddaaka
  89. (Yusuf) naagamba nti: mumanyi ekyo kye mwakola Yusuf ne Mugandawe nga temumanyi (bigenda kuddirira)
  90. Nebagamba nti mazima ddala ggwe Yusuf, naagamba nti nze Yusuf era ono Muganda wange, Katonda yatugonnomolako ebyengera era anti mazima omuntu atya Katonda era naagumiikiriza mazima Katonda tayinza butasasula bakozi ba bulungi
  91. Nebagamba nti tulayira Katonda nti mazima Katonda yakuwa enkizo ku ffe, era mazima mu byonna bye twakola twali basobya
  92. Naagamba nti olwa leero si lunaku lwa kubanenya, nsaba Katonda abasonyiwe era yye ye musaasizi asinga abasaazizi bonna
  93. Mutwale ekyambalo kyange kino mukisuule ku maaso ga Kitange ajja kuddamu alabe era mundeetere abantu ba mmwe bonna
  94. Ekibinja (kyabwe) bwe kyamala okuva (Emisiri) Kitaabwe naagamba nti mpulira akawoowo ka Yusuf singa si kutya nti munamputtawaza
  95. Nebagamba nti tulayira Katonda mazima ggwe oli mu bubuzeebwo obw'edda
  96. Eyaleeta amawulire ag'esssanyu bwe yatuuka, (ekyambalo) yakissa ku kyenyikye (ekya Yakub) awo wennyini naddamu okulaba. (Yakub) naagamba nti saabagamba nti mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi
  97. Nebagamba nti owange Kitaffe tusabire Katonda atusonyiwe ebyonoono byaffe mazima twali basobya
  98. Naagamba nti nja kubasabira Mukama omulabirizi wange abasonyiwe, mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo
  99. Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza bakaddebe gyali era naagamba nti muyingire Misiri mubeere mirembe Katonda bwanaaba ayagadde
  100. Era yasitula bakaddebe naabatuuza ku Ntebeye (Ey'obukulubwe) bonna ne bakutama ne bamuvunnamira era naagamba nti owange Kitange, gano ge makulu g’ekirooto kyange kye nnaloota edda, mazima Katonda wange akituukirizza, era mazima yankolera obulungi bwe yanzija mu kkomera ate na mmwe naabaleeta okubajja mu kyalo oluvanyuma lwa Sitane okuba nti yatabula wakati wange ne baganda bange. Mazima Mukama omulabirizi wange alumirwa oyo gwaba ayagadde anti mazima yye mumanyi nnyo mugoba nsonga
  101. Ayi Mukama omulabirizi wange mazima ompadde kyompadde mu bufuzi era nommanyisa okuvvuunula endooto, (ggwe) omutonzi w'eggulu omusanvu ne nsi, ggwe mukuumi wange ku nsi ne ku nkomerero. Nzita nga ndi musiraamu onteeke mu bakozi b'obulungi
  102. Ebyo nno bye bimu ku bigambo ebyekusifu bye tukutumira (ggwe Muhammad) era tewali nabo bwe bassa ekimu nga bakola olukwe
  103. Abantu abasinga obungi ne bwolulunkana otya tebayinza kubeera bakkiriza
  104. Sso ate tobasaba mpeera (ku kyobalungamya) tekiri (kyokola) okugyako okujjukiza eri ebitonde
  105. Obubonero bumeka mu ggulu omusanvu n'ensi bwe bayitako nga bbo tebabufaako
  106. Abasinga obungi mu bo tebakkiriza Katonda okugyako nga era bamugattako ebintu ebirala
  107. Abaffe baafuna obukakafu okuba nti tebayinza kujjirwa kibonerezo ky'amaanyi okuva ewa Katonda oba olunaku lw'enkomerero nerubatuukako kibwatukira nga nabo tebategedde
  108. Gamba nti: lino ly'ekkubo lyange nkowoola abantu okujja eri Katonda, nze n'abangoberera tukola ekyo nga tusinziira ku kulungamizibwa, era Mukama Katonda yasukkuluma, era nze siyinza kubeera mu bamugattako kintu kirala
  109. Tetwatumako oluberyeberye lwo okugyako basajja nga tubawa obubaka nga bantu ba mu bitundu ebyo (bye baatumwamu) abafffe tebatambula mu nsi ne balaba, yali etya enkomerero y'abo abaabasooka, e nyumba y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera
  110. (Okutaasibwa kwa bantu tekwajjanga) okutuusa ababaka lwe baasemberanga okukutuka n'okusuubira era ne balowooza nti mazima bo baalimbisibwa (awo nno) okutaasa kwa ffe ne kubajjira, naawonyezebwa oyo gwe twayagala awonyezebwe, obukambwe bwaffe ku bantu aboonoonyi tebuwonyezebwa
  111. Mu nkuru zabo rwose habaye isomo kubumva. Ntabwo Qor'ani yigeze ivumburwa, ahubwo ni ibyemeza ibyayibanjirije ndetse no gusobanura mu buryo burambuye ibintu byose, ubuyobozi n'imbabazi kubantu bizera