11.Hud

  1. Alif Laam Raa, ekitabo kino e bigambo by'akyo byasengekebwa oluvanyuma nebinnyonnyolwa mu bujjuvu okuva ewa Katonda akola buli kintu ng’asinziira ku nsonga ng’ate amanyi mu bujjuvu buli kintu
  2. Kitegeeza abantu nti temusinzanga kintu kyonna wabula Katonda yekka mazima nze gye muli ndi mutiisa (ku bibonerezo bye) era omusanyusa (olw'emperaye eri abalongoosa)
  3. (Era kibagamba) nti mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwenenyeze olwo nno ajja kubeeyagaza olweyagaza olulungi okutuusa ku kiseera ekigere era buli oyo yenna ateekeddwa okufuna obulungi agenda kumuwa obulungibwe, naye bwe muva ku ekyo mazima nze mbatiirira ebibonerezo by'olunaku oluzibu
  4. Eri Katonda y'eri obuddo bwa mmwe ate yye nga bulijjo muyinza ku buli kintu
  5. Abange mazima bbo (abatakkiriza) bakweka ebifuba byabwe babe nga beekweka Katonda, abange (mukimanye nti) ne mu kiseera webeebikkira engoye zaabwe Katonda amanya ebyo bye bakweka ne bye boolesa, anti mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba
  6. Tewali kitonde kyonna mu bitambula ku nsi okugyako nga okugabirirwa kwa kyo kuli ku Katonda, era amanyi byonna ebikikwatako mu bulamu bw'ensi n’obwoluvanyuma, buli kimu kiri mu kitabo ekyeyolefu
  7. Era yye yooyo, eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku mukaaga, era Arish ye yali ku mazzi, olwo nno alyoke abagezese ani mu mmwe asinga okukola obulungi, singa ogamba (Ggwe Muhammad) nti mazima mmwe mujja kuzuukizibwa oluvanyuma lw'okufa abo abakaafuwala bajja kugambira ddala nti tekiri kino (Kur’ani) okugyako eddogo ery'olwatu
  8. Singa tulindiriza ku bo ebibonerezo okutuuka ekiseera ekigere bajja kugambira ddala nti ate ki ekibigaana okujja, abange! olunaku lwe biribajjira si bya kubaggyibwako, era biribeetoloola ebyo bye baajeejanga
  9. Omuntu bwe tumukombesa ku kusaasira okuva gye tuli ate oluvanyuma ne tukumuggyako mazima yye akutuka n'okusuubira n'akaafuwala
  10. Naye ate bwe tumukombesa ku byengera oluvanyuma lw'ebizibu ebiba bimutuuseeko ajja kugambira ddala nti obuzito bunvuddeko, mazima yye aba musanyufu eyeeraga
  11. Okugyako abo abagumiikiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'empeera ennene
  12. Olabika nga oli waakuleka ebimu ebissibwa gyoli, era ekyo nga kikunyiga mu kifubakyo olw'okuba nti bagamba nti singa aweebwa eggwanika oba Malayika najja naye. Mazima ggwe oli mutiisa. Ate nga Katonda ye mweyimirize ku buli kintu
  13. Oba bagamba nti (Kur’ani eno Muhammad) yagigunjawo bagambe nti kale muleeteeyo essuula kkumi enjiiye ezifaanana (Kur’ani) era ng'oggyeko Katonda muyite yenna gwe musobodde (abayambeko) bwe muba nga mwogera mazima
  14. Bwe bataabaanukule, olwo nno mumanye nti mazima yyo (Kur’ani) yassibwa na kumanya kwa Katonda era tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, abaffe mmwe mwewaddeyo ewa Katonda (ne musiramuka)
  15. Oyo yenna ayagala obulamu obw'ensi n'ebyokwewunda kwayo tubasasula mu bujjuvu emirimu gya bwe mu yo era nga bo muyo tebaseerwa
  16. Abo beebo abatalina ku nkomerero kintu kyonna okugyako omuliro, era byonna bye bakola ku nsi nebitabalibwa, bye baakolanga byalinga byonoonefu
  17. Abaffe balimbisa oyo (Muhammad) ku bunnyonnyofu obuva ewali Mukama omulabiriziwe, era nga abusoma omujulizi (Jiburilu) ava ewa Katonda nga n'oluberyeberyelwe waliwo ekitabo kya Musa nga kiraga ekkubo era nga kusaasira, abo (Muhammad n'abantube) bagikkiriza ate ebibiina byonna ebitagikkiriza omuliro y'endagaano yaabwe, tobeeranga mu kugibuusabuusaamu, mazima yyo ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo. Naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza
  18. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja obulimba ku Katonda! abo bagenda kwanjulwa ewa Mukama omulabirizi waabwe nti abo baawaayiriza Mukama Katonda Omulabirizi waabwe. Abange ekibonerezo kya Katonda kibeere ku beeyisa obubi
  19. Abo abaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda ne babaagaliza kukoleramu bikyamu, era nga nabo olunaku lw'enkomerero baluwakanya
  20. Abo tebaali ba kulemera ku nsi, era ng'oggyeko Katonda tebalinaayo ba mukwano balala bayinza kubawonya, ebibonerezo bya bwe bigenda kwongezebwamu anti baali tebasobola kuwulira era nga bwe baali tebalaba
  21. Abo be baafaafaganirwa emyoyo gya bwe ne bibaggwako bye baayiiyanga
  22. Kikakafu ddala bbo ku lunaku lw'enkomerero be balifaafaganirwa ennyo
  23. Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu ne bamenyekera Mukama omulabirizi waabwe abo be ba nannyini jjana, bo mu yo ba kutuulamu bugenderevu
  24. Ekifaananyi ky'ebibinja ebibiri (ebyogeddwako waggulu) kiringa ekya muzibe ne kiggala n'oyo alaba era nga awulira abaffe balabika nti bafaanana temwebuulirira
  25. Mazima twatuma Nuhu eri abantube (n'abagamba) nti mazima nze ndi mutiisa wa mmwe omweyolefu
  26. (Mbategeeza) nti temusinza kintu kyonna okugyako Katonda mazima nze mbatiiriddeko e bibonerezo by'olunaku olw'okuluma obugigi
  27. Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti tetukulaba ggwe okugyako okuba nti oli muntu nga ffe, era tetulaba abakugoberedde okugyako ab'awansi mu ffe ab'endowooza entono, mwenna tetubalabamu nkizo yonna ku ffe wabula tubalowooza kuba balimba
  28. Nuhu naagamba nti abange bantu bange mulaba mutya singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange era nampa okusaasira okuva gyali naye mmwe ekyo ne mutakiraba, abaffe tusobola okukibawaliriza ng’ate mmwe temukyagala
  29. Era abange mmwe abantu bange (kye mbagamba) si kibasabirako sente, empeera yange teri wantu wonna okugyako ewa Katonda (era nnyaniriza abo bonna ababa bangoberedde) era siri nze w'akugoba abo abakkiriza (ne bwe bataba ba bitiibwa) mazima ddala bo baakusisinkana Mukama omulabirizi waabwe naye mazima ddala nze mbabala mmwe nga muli bantu abatamanyi
  30. Era abange bantu bange ani ayinza okuntaasa ku Katonda bwemba mbagobye, abaffe temujjukira
  31. Era siyinza kubagamba (mmwe) nti nina amawanika ga Katonda, era simanyi byekusifu, sigamba nti mazima nze ndi Malayika era sigamba abo amaaso ga mmwe begatawa kitiibwa nti Katonda tagenda kubawa birungi, Katonda y'amanyidde ddala ebyo ebiri mu mitima gya bwe, n'olwekyo mazima nze nemmala nkikola ddala mbeera mu beeyisa obubi
  32. Nebagamba nti owange Nuhu mazima otukaayanyizza n'oyitiriza okutukaayanya, kale tutuuseeko ebyo by'otulagaanyisa bwoba nga oyogera mazima
  33. (Nuhu) naagamba nti mazima Katonda ajja kubibatuusaako bwanaaba ayagadde, ate temuyinza kumulemesa
  34. Era okubuulirira kwange tekujja kubagasa singa mba njagadde okubabuulirira, ate Katonda n'aba nga ayagadde kubabuza. Yye ye Mukama omulabirizi wa mmwe era gyali gye mulizzibwa
  35. Oba bagamba nti (Muhammad, Kur’ani) yagunja ngunje, bagambe bwe mba nagyegunjirawo ekyonoono ekyo kiri kunze, naye nange sirina kakwate ku ebyo bye mwonoona
  36. Nuhu n'aweebwa obubaka nti mazima tebagenda kukkiriza mu bantubo okugyako abo abakkiriza edda n'olwekyo tonakuwala olw'ebyo bye baali bakola
  37. Kale kola eryato nga naffe tukutunuulidde era okole okusinziira ku ndagirira yaffe era toyogera nange ku bikwata ku abo abeeyisa obubi, mazima ddala bo baakufiira mu mazzi
  38. (Nuhu) n'aba nga akola eryato. Buli lwonna abakungu mu bantube webaamuyitirangako baamusekereranga naagamba nti bwe muba nga mutusekerera naffe tujja kubasekerera nga bwe mutusekerera
  39. Lumu mujja kumanya ani gwe binajjira ebibonerezo ebimuswaza era najjirwa ebibonerezo eby'olubeerera
  40. (Baabeera bwe batyo) okutuusa ekiragiro kya ffe lwe kyajja ettanuuru neefukumuka amazzi netugamba (Nuhu) nti pakira mu lyo, ngojja mu buli mutindo gwabiramu bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, era pakiramu abantu b'o mu maka go okugyako oyo eyakakatako edda ekigambo (ekyokuzikirira) era pakiramu buli yenna eyakkiriza, wabula tewaali bakkiriza baali naye okugyako batono
  41. (Nuhu) naagamba nti mulinnye e lyato, okutambula kwa lyo n'okuyimirira kwa lyo byonna bibeewo ku lwe linnya lya Katonda, mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi
  42. Nalyo neriseeyeeya nabo, mu mayengo agenkana ensozi, mu kiseera ekyo Nuhu yakowoola Mutabaniwe eyali awo ku mabbali g'elyato naamugamba nti mwana wange linnya ogende naffe tosigala n'abakafiiri (n'ozikirira)
  43. (Omwana) naagamba nti njakulinnya olusozi lujja kumponya amazzi. (Nuhu) naagamba nti tewali ayinza kuwonya olwa leero ( muntu n'asimattuka ) ku kiragiro kya Katonda, okugyako Katonda gwanaaba asaasidde. Awo nno amayengo ga yawula wakati waabwe (omwana) naabeera mu baasaanawo
  44. (Ng'ebitonde bimaze okuzikirira) waalangirirwa nti owange ttaka mira amazzi naawe ggulu lekera awo okutonnyesa enkuba era amazzi gaakalira ensonga neekoma awo eryato neritereera ku lusozi oluyitibwa Juudi era newalangirirwa nti okwesamba okusaasira kwa Katonda kubeere ku bantu abeeyisa obubi
  45. Nuhu n'akoowoola Mukama omulabiriziwe naagamba nti Mukama omulabirizi wange mazima Mutabani wange y'omu ku bo mu maka gange era mazima endagaano yo ya mazima era ggwe osinga abalala bonna okugoba e nsonga
  46. (Katonda) naagamba nti owange Nuhu mazima yye si wa mu bantubo mazima yye yakola ekikolwa ekitali kirungi, n'olwekyo tonsaba ekyo kyotalinaako kumanya, mazima nze nkubuulirira oleme kubeera mu batategeera
  47. (Nuhu) naagamba nti nkusaba obukuumibwo nneme kuba nga nkusaba ekyo kye sirinaako kumanya era bwotonsonyiwe n'onsaasira nja kubeera mu bafaafaaganiddwa
  48. Newalangirirwa nti owange Nuhu kka (ove mu lyato), ebiva gye tuli, gibe mirembe na mikisa ku ggwe, ne ku bibiina bya bantu ebiri naawe ne ku bibiina bya bantu betujja okweyagaza mu nsi, oluvanyuma ebibonerezo ebiruma ennyo bibatuukeko okuva gye tuli
  49. Ebyo bye bimu ku bintu ebyekusifu tubikutumira ggwe (Muhammad) tobimanyangako ggwe wadde abantubo oluberyeberye lwa kino, n'olwekyo gumiikiriza, mazima enkomerero (e nnungi) y’abatya Katonda
  50. Era ab'ekika kya A’di twabatumira muganda waabwe Hudu naagamba nti abange abantu bange musinze Katonda, ngoggyeko yye tewali kirala kyonna kisinzibwa, temuli mmwe okugyako abagunja obugunja bye musinza
  51. Abange bantu bange, si basaba mpeera ku kino, empeera yange teri okugyako ku oyo eyantonda, abaffe temutegeera
  52. Era abange bantu bange, mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe, oluvanyuma mwenenye mudde gyali, ajja kubasindikira okuva mu bire waggulu enkuba etonnya ngeddingana, era abongere amaanyi ku maanyi ga mmwe, era temukyukanga nemuva ku ekyo ne muba aboonoonyi
  53. Nebagamba nti owange ggwe Hudu totuleetedde bujulizi bweyolefu (ku ebyo byogamba) ate era naffe tetuyinza kuleka ba katonda baffe olw'okuba ogambye, era ffe tetugenda kukukkiriza
  54. (Okusinziira ku ebyo by'oyogera) tetulina kye tugamba okugyako nti abamu ku ba katonda baffe be bakuliko mu ngeri eyo embi. (Hudu) naagamba nti era mazima nze njuliza Katonda na mmwe mujulire nti ddala nze ndi wala n'ebyo bye mugatta ku Katonda
  55. Nemulekawo Katonda, kale munsalire enkwe mwenna ate temunnindiriza
  56. Mazima nze neekwasizza Mukama Katonda omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kitambula ku nsi okugyako yye y'akutte akawompo kakyo, mazima Mukama omulabirizi wange ali ku kkubo ggolokofu
  57. Bwe munaava ku ekyo mazima nze mmaze okubatuusaako ekyo kye nnatumwa nakyo era Mukama omulabirizi wange mu kifo kya mmwe ajja kussaawo abantu abalala abatali mmwe, era temulina kabi kemugenda kumutuusaako. Mazima Mukama omulabirizi wange buli kyonna ekikolebwa akilondoola (tewali kimubuuka)
  58. Ekiragiro kya ffe bwe kyamala okujja ku lw'okusaasira kwa ffe, twawonya Hudu n'abo abakkiriza abaali naye ne tubawonya ebibonerezo ebizito
  59. Abantu abo ab'ekibiina kya A’di baawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe ne bajeemera ababakabe ne bagoberera ekigambo kya buli eyeekuza awalaaza empaka
  60. Mu nsi muno nebagoberezebwako ekikolimo, mu ngeri yeemu ne ku lunaku lw'enkomerero, abange mazima ab'ekika kya A’di baajeemera Mukama omulabirizi waabwe abange okubula okwewala ennyo kutuuke ku b'ekika kya A’di abantu ba Hudu
  61. Bo ab'ekika kya Thamud twabatumira Muganda waabwe Swaleh, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaayo kintu kyonna kigwanidde kusinzibwa okugyako yye, yye yeeyabatandikawo ng’abaggya mu nsi, ate naabakwasa obuyinza okugikulaakulanya, kale mumwegayirire, era mwenenye, mudde gyali mazima Mukama omulabirizi wange ali kumpi ayanukula (abamusaba)
  62. Nebagamba nti owange Swaleh, mazima obadde mu ffe, nga tukulinamu essuubi, nga kino tekinnabaawo. Otugaana okusinza ebyo bakadde baffe bye basinza era mazima ffe tulina okubuusabuusa okujjudde okutankana ku ekyo ky'otuyita okujja gye kiri
  63. Naagamba nti abange bantu bange, mukiraba nti singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange, era nenfuna okusaasira okuva gyali, kale ani anantaasa ku Katonda bwe mmugyemera (singa nkolera ku bya mmwe), temulina kye munnyogera okugyako okufiirwa
  64. Abange bantu bange eno engamiya evudde wa Katonda nga kabonero gye muli (okukakasa obwa Nabbi bwange), n'olwekyo mugireke erye ebiri mu nsi ya Katonda, temugezaako ne mugituusaako akabi konna nekibaviirako okutuukibwako ebibonerezo ebya mangu
  65. (Nebamuwakanya era) nebagifumita olwo nno ye (Swaleh) kwe kubagamba, mweggalire mu mayumba gammwe okumala ennaku ssatu (zokka), eyo ndagaano etalimbisibwa
  66. Ekiragiro kya ffe bwe kyamala okujja, twawonya Swaleh n'abo abakkiriza abaali naye olw'okusaasira okuva gye tuli era netubawonya ne mu buswavu obw'olunaku olwo, anti mazima Mukama omulabiriziwo ye wa maanyi nantakubwa ku mukono
  67. Abo nno abeeyisa obubi ne batuukibwako olubwatuka (olw'amanyi) olwo nno nebakeesa nga mirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe
  68. (Engeri gye baazikirizibwamu) baali nga abatawangalirangako mu go, abange mazima abantu b'ekika kya Thamud baawakanya Mukama omulabirizi omulezi waabwe, abange abantu ba Thamud babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda
  69. Mazima ababaka baffe (Ba Malayika) bajja eri Ibrahim n'amawulire ag'essanyu, nti (Yye ne Mukyalawe bajja kuzaala omwana Ishaka) ne bamugamba nti mirembe naye naabagamba (ng’abaddamu) nti mirembe, waayitawo akaseera katono naabaleetera ennyana enjokye
  70. (Ibrahim) bwe yalaba emikono gya bwe nga tegituuka ku nnyama naabekengera, (Ba Malayika) bo kwe kumugamba nti totutya, mazima ffe tuli ba Malayika tutumiddwa eri abantu ba Luutu (okubazikiriza)
  71. Nga mukyala wa Ibrahim (Sarah) ayimiridde (abawulira) naaseka (nga yeewuunya olw'ebyo bye yawulira) olwo nno ne tumuwa amawulire ag'essanyu ag'okuba nti ajja kuzaala Ishaka ate nga n’oluvanyuma lwa Ishaka wajja kuzaalibwayo Yakub (omuzzukulu)
  72. (Omukyala Sarah bwe yamala okufuna amawulire g’okuzaala Ishaka) naagamba (nga bwe yewuunya) nti: gano nga mawano nze (Sarah) ngenda kuzaala omwana nga ndi mukadde bwe nti nga n'ono baze kinvinvi, mazima kino kintu ekye wuunyisa nnyo
  73. (Ba Malayika) ne bagamba nti: butya bwe weewuunya ekiragiro kya Katonda! okusaasira kwa Katonda n'emikisagye bibeere ku mmwe abantu benju (ya Ibrahim). Mazima Katonda atenderezebwa nnyo wa kitiibwa nnyo
  74. Ensisi bwe yamala okuggwa ku Ibrahim, ng’amaze n'okufuna amawulire ag'essanyu, yagenda mu maaso nga atukaayanya (nga awolereza) abantu ba luutu
  75. Mazima Ibrahim yali wa kisa nnyo ate nga asaba nnyo Katondawe era nga amwenenyeza ku buli nsonga
  76. (Ba Malayika nebamugamba nti) owange Ibrahim ebyo biveeko mazima kimaze okutuuka ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo era mazima bo bagenda kujjirwa ebibonerezo ebitali bya kuzzibwayo
  77. Ababaka baffe bwe bajja ewa Luutu, tebaamusanyusa naawulira bubi (olw'okuba yali tasobola kubakuuma) era naagamba nti luno lunaku luzibu
  78. Abantube nebajja gyali nga banguwa naye nga okusooka baali bakola ebibi (Luutu) naagamba nti abange bantu bange bawala bange baabo be balungi gye muli, mutye Katonda temunswaza eri abagenyi bange, abaffe mu mmwe temuli musajja mulungamu
  79. Nebagamba mazima okimanyi nti bawalabo tetubalinaako bwetaavu, era mazima ddala ggwe omanyi kye twagala
  80. (Luutu) naagamba nti (neegomba) singa mbadde nina amaanyi ku mmwe, oba empagi engumu gyensobola okwesigamako, (abantu abasobola okuntaasa)
  81. (Ba Malayika) nebagamba nti owange Luutu ffe tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo (abo) tebajja kukutuukako, tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro, era takyuka omu ku mmwe (naatunula emabega, genda n'abantubo) okugyako Mukyalawo, anti mazima kiri nti ajja kutuukwako ebinaatuuka ku bali. Mazima ekiseera ekibalagaanyisiddwa bwe budde bw'oku makya, obudde bw'oku makya tebuli kumpi
  82. (Ekitundu mwe baali babeera), ekiragiro kyaffe bwe kyajja, waggulu wa kyo wetwazza wansi era netukiwandagazaako amayinja amakole mu bbumba ejjokye nga gajjira kumukumu
  83. (Amayinja ago) nga malambe okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ekibonerezo ng'ekyo tekiri wala ku buli abo bonna abeeyisa obubi
  84. Ate abe Madiyana twabatumira Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaawo kirala kyonna kye mulina kusinza ekitali yye, temukendeezanga ebipimo ne minzani, mazima nze mbalaba nga musigala muli bulungi (bwe muba temukendeezezza mu bipimo ne minzani). Era mazima nze mbatiiriddeko ebibonerezo by'olunaku olugenda okwetooloola buli kimu
  85. Era abange bantu bange mutuukirize ebipimo ne minzani mu bwesimbu temukumpanyanga abantu ebintu bya bwe, era temukolanga ebibi mu nsi nga mugenderera okwonoona
  86. Ebilekeddwa Katonda (nga oggyeko byayogedde wa ggulu ebitaliimu kukumpanya bantu) bye birungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza. Era nze siri kalondoozi ku mmwe
  87. Nebagamba nti owange Swaibu okusaalakwo kwe kukulagira okuba nga tuleka bakadde baffe bye basinza, oba tukkirizibwa okukola mu mmaali yaffe bye twagala, anti ggwe oli alumirwa ow'amagezi
  88. Naagamba nti abange bantu bange mulaba nti singa mbadde ku bulungamu obwava ewa Mukama omulabirizi wange, nampa ne Riziki ennungi ate nnyinza okubaleka (nessibagambako) ate era saagala kubaawukanako nenzira ku ebyo bye mbagaana sirina kyengenderera kyonna okugyako okulongoosa nga bwemba nsobodde, era okulungama kwange tekuli okugyako ewa Katonda yye gwenneekwasiza era gyali gyengenda okudda
  89. Era abange bantu bange okwawukana kwange na mmwe tekubatwaririza nemutuukwako ebyo ebyatuuka ku bantu ba Nuhu oba abantu ba Hudu oba abantu ba Swaleh era abantu ba Luutu tebali wala na mmwe
  90. Era musabe Mukama omulabirizi wa mmwe ekisonyiwo olwo nno mwenenye okudda gyali mazima Mukama omulabirizi wange musaasizi mwagazi nnyo (wa bitondebye)
  91. Nebagamba nti owange Swaibu bingi mu by'ogamba tetubitegeera ate era tukulaba ng'oli munafu muffe singa si kika kyo twandikukubye amayinja era ggwe tolina kitiibwa kyonna gye tuli
  92. Naagamba nti abange bantu bange ekika kyange kye ky'ekitiibwa gye muli okusinga Katonda ne mutuuka okumussa emabega wa mmwe nga mumukubye amabega mazima Mukama omulabirizi wange yeetoolodde byonna bye mukola
  93. Era abange bantu bange mukolere ku nkola ya mmwe nange kankole, ddala mujja kumanya ani, anajjirwa ebibonerezo ebimuswaza, era ani mulimba, naye era mulindirire mazima nze nindirira awamu na mmwe
  94. Ekiragiro kyaffe bwe kyamala okujja, ku lw'okusaasira kwaffe, twawonya Swaibu n'abo abakkiriza naye. Abo abeeyisa obubi nebatuukwako okubwatuka nebakeesa enkya nga mirambo egigangalamye mu mayumba ga bwe
  95. Nebaba nga abatagabeerangamu, abange abantu be Madiyana babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda nga abantu ba Thamud bwe beesamba okusaasira kwa Katonda
  96. Mazima twatuma Musa n'ebyamagero byaffe n'obujulizi obw'olwatu
  97. Agende ewa firawo n'eri abakungube, bo abakungu baagoberera ekigambo kya Firawo, naye nga ekigambo kya Firawo si kirungamu
  98. (Firawo) alikulembera abantube ku lunaku lw'enkomerero naabayingiza omuliro. Buyingiro bubi bwe baliyingira
  99. Ate nebagoberezebwa ekikolimo kuno ku nsi ne ku lunaku lw'enkomerero, ennyongeza mbi ne kye bongerako nakyo kibi
  100. Ebyo bye bimu ku bigambo ebikwata ku bitundu bye twazikiriza, tubikutegeeza ggwe (Muhammad), mu byo mulimu ebikyaliwo nga n'ebirala byasaanawo
  101. (Okubatuusaako ebyo) tetwabayisa bubi wabula beeyisa bokka obubi, ba Katonda baabwe abo be basaba ne bava ku Katonda omu tebaabagasa kintu kyonna, ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo bwe kyajja, era tebaabongera okugyako okufaafaganirwa
  102. Bwe kutyo bwe kuba okukwata kwa Mukama omulabiriziwo. Bwakwata e bitundu nga biri mu mbeera ey'okweyisa obubi mazima okukwata kwe kuluma nnyo era kuyitirivu
  103. Mazima ekyo mulimu ekyokulabirako eri oyo atya ebibonerezo byo lunaku lw'enkomerero, olwo lwe lunaku ku lwalwo abantu bonna bagenda kukunganyizibwa era olwo olunaku abantu bonna baakulubaako
  104. Era tetululindiriza okugyako okutuuka ku kiseera kya lwo ekigere
  105. Olunaku bwe lulituuka teri muntu yenna agenda kwogera okugyako lwa kukkiriza kwa Katonda, nga mu bo mulibaamu abonoonefu n'abalongoofu
  106. Bo abo abaajeema baakuyingira muliro baliba balina mu gwo okusinda n'okukema
  107. Baakugubeeramu ebbanga eggulu (omusanvu) ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ekiseera Mukama omulabiriziwo kyaliba ayagadde mazima Mukama omulabiriziwo akola ekyo kyaba ayagadde
  108. Bo abo abaweebwa obulongoofu baakuyingira e jjana nga baakugibeeramu ebbanga eggulu omusanvu ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ebbanga Mukama omulabiriziwo lyaliba ayagadde nga okwo kuweebwa okutalibaako kutaataaganyizibwa
  109. Tobaamu kubuusabuusa mu ebyo bye basinza tebasinza okugyako nga ba Jjajaabwe bwe baasinzanga oluberyeberye,era mazima ffe tujja kubatuukiririza omugabo gwa bwe awatali kukendezaako
  110. Mazima twawa Musa ekitabo ne kyawukanwamu, singa si kigambo ekyava ewa Mukama omulabiriziwo ekyakulembera, eggoye lyandisaliddwawo (nebazikirira) era mazima bo bali mu kubuusabuusa era nga batankana (ku nsonga ya Kur’ani)
  111. Na mazima ddala bonna Mukama omulabiriziwo agenda kubasasula emirimu gya bwe mu bujjuvu, mazima yye amanyidde ddala bye bakola
  112. Kale beera mwesimbu nga bwolagiddwa, n'abo abeenenyezza naawe era temubeera ba kiwagi, anti mazima ye (Katonda) bye mukola abiraba
  113. Era temuggweranga ku abo abeeyisa obubi, omuliro negubakwata ate nga ojjeeko Katonda temulinaayo bayambi balala, era temugenda kutaasibwa
  114. Era yimirizaawo e sswala ku nsalosalo ebbiri ez'emisana (ku makya n'akawungezi) n'ekiseera ekisooka ku kiro mazima ebirungi bijjawo ebibi. Okwo nno kubuulirira eri abo abajjukira
  115. Era gumiikiriza, bulijjo Katonda tayinza butasasula mpeera ya bakozi ba bulungi
  116. Singa waaliyo mu mirembe egyabakulembera abantu abalina kye baasigazaawo (mu ddiini) nga bagaana obwonoonefu mu nsi, (tebaaliyo) okugyako batono nnyo mu abo be twawonya mu bo. Wabula bo abeeyisa obubi ne batwalibwa ebirungi bye baaweebwa mu nsi nebaba aboonoonyi
  117. Mukama omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza ebitundu mu bulyazaamaanyi nga ate abantu baabyo bakozi ba bulungi
  118. Singa Mukama omulabiriziwo yayagala, abantu bonna yandibafudde ekibiina kimu, naye tebagenda kuva ku kwawukana
  119. Okugyako oyo Mukama omulabiriziwo gwaba asaasidde. N'olwekyo kyeyava abatonda, era kyakakata ekigambo kya Mukama omulabiriziwo nti ngenda kujjuza omuliro Jahannama nga nzija mu majinni n'abantu okutwalira awamu
  120. Era tukutegeeza buli kimu ekikwata ku babaka, ekyo kyetunyweza nakyo omutima gwo, era mu kino ojjiddwa amazima n'okubuulirira, era nga kya kujjukiza eri abakkiriza
  121. Era gamba abo abakkiriza nti mukolere ku nkola ya mmwe naffe katukole
  122. Era mulindirire naffe tulindiridde
  123. Kandi kuri Allah ni iby'ibintu bitagaragara by'ijuru n'isi kandi kuri we azasubizwa icyo kibazo, byose, bityo rero musenge kandi umwishingikirize. Kandi Umwami wawe ntabwo azi ibyo ukora